LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Samwiri 22:26-31
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 26 Eri omwesigwa naawe oba mwesigwa;+

      Eri oyo ataliiko kya kunenyezebwa, ow’amaanyi, naawe olaga nti toliiko kya kunenyezebwa;+

      27 Eri omulongoofu olaga nti oli mulongoofu,+

      Naye eri atali mugolokofu olaga nti oli mugezi nnyo.+

      28 Olokola abawombeefu,+

      Naye ab’amalala obatunuulira bubi era obatoowaza.+

      29 Ggwe ttaala yange, Ai Yakuwa;+

      Yakuwa y’afuula ekizikiza kyange ekitangaala.+

      30 Bw’onnyamba nsobola okulwanyisa ekibinja ky’abazigu;

      Olw’amaanyi ga Katonda nsobola okulinnya bbugwe.+

      31 Ekkubo lya Katonda ow’amazima lyatuukirira;+

      Ebigambo bya Yakuwa birongoofu.+

      Ngabo eri abo bonna abamufuula ekiddukiro kyabwe.+

  • Yobu 34:11
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 11 Kubanga ajja kusasula omuntu okusinziira ku bikolwa bye,+

      Era ajja kumuleka atuukibweko ebiva mu makubo ge.

  • Yeremiya 32:19
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 19 Ebigendererwa byo bya kitalo era ebikolwa byo bya maanyi;+ amaaso go galaba amakubo g’abantu gonna,+ osobole okuwa buli muntu okusinziira ku makubo ge n’ebikolwa bye.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share