LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yobu 26:14
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 14 Naye ebyo bitono nnyo ku ebyo by’akola;

      Bye tumuwulirako bye bitono ddala.+

      Kale ani ayinza okutegeera engeri gy’aleeteramu eggulu okubwatuka n’amaanyi?”+

  • Yobu 42:3
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  3 Wagambye nti, ‘Ani oyo aziyiza okubuulirira kwange mu butamanya?’+

      N’olwekyo nnayogera, naye nga sitegeera,

      Ku bintu eby’ekitalo bye simanyi.+

  • Zabbuli 40:5
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  5 Ai Yakuwa Katonda wange,

      Bye wakola nga bingi,

      Ebikolwa byo eby’ekitalo n’ebyo bye watutegekera.+

      Tewali alinga ggwe;+

      Ne bwe nnandigezezzaako okubyogerako,

      Bisusse obungi, tebimalikayo!+

  • Abaruumi 11:33
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 33 Obugagga bwa Katonda n’amagezi ge n’okumanya kwe nga bya buziba! Ensala ye ey’emisango nzibu okutegeerera ddala mu bujjuvu, n’amakubo ge gonna tetusobola kugategeera ne tugamalayo.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share