LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Samwiri 12:7
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 7 Awo Nasani n’agamba Dawudi nti: “Ggwe musajja oyo! Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba: ‘Nze kennyini nnakufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri,+ era ne nkununula mu mukono gwa Sawulo.+

  • 2 Samwiri 12:9
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 9 Kale lwaki wanyooma ekigambo kya Yakuwa n’okola ekintu ekibi mu maaso ge? Watta Uliya Omukiiti n’ekitala,+ era n’otwala mukazi we abeere mukazi wo,+ ng’omaze okumutta n’ekitala ky’Abaamoni.+

  • Engero 17:10
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 10 Omuntu omutegeevu anenyezebwa lumu n’aganyulwa+

      Okusinga omusirusiru akubibwa emirundi kikumi.+

  • Abaggalatiya 6:1
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 6 Ab’oluganda, omuntu ne bw’aba ng’akutte ekkubo ekkyamu naye nga tannakitegeera, mmwe abalina ebisaanyizo eby’eby’omwoyo mugezeeko okumutereeza, nga mukikola mu mwoyo omukkakkamu.+ Naye mwekuume,+ sikulwa nga nammwe mukemebwa.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share