-
2 Bassekabaka 6:15, 16Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 Omuweereza w’omusajja wa Katonda ow’amazima bwe yagolokoka ku makya n’afuluma ebweru, n’alaba eggye eryalimu embalaasi n’amagaali ag’olutalo nga lizingizza ekibuga. Awo omuweereza n’agamba Erisa nti: “Zitusanze mukama wange! Tukoze tutya?” 16 Naye Erisa n’amuddamu nti: “Totya,+ kubanga abali naffe bangi okusinga abali nabo.”+
-
-
Zabbuli 27:3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
Ne bwe nnumbibwa mu lutalo,
Nja kusigala nga ndi mugumu.
-