-
2 Samwiri 7:15-17Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 Okwagala kwange okutajjulukuka tekulimuggibwako nga bwe nnakuggya ku Sawulo,+ gwe nnaggya mu maaso go. 16 Ennyumba yo n’obwakabaka bwo biriba binywevu emirembe n’emirembe mu maaso go; era entebe yo ey’obwakabaka erinywezebwa emirembe n’emirembe.”’”+
17 Awo Nasani n’ategeeza Dawudi ebigambo ebyo byonna n’okwolesebwa okwo kwonna.+
-
-
1 Bassekabaka 3:6Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 Sulemaani n’agamba nti: “Walaga kitange Dawudi omuweereza wo okwagala okutajjulukuka kungi, olw’okuba yatambuliranga mu maaso go mu bwesigwa ne mu butuukirivu era n’omutima omugolokofu; era oyongedde okumulaga okwagala kuno okungi ennyo okutajjulukuka n’okutuusa leero n’omuwa omwana atuule ku ntebe ye ey’obwakabaka.+
-