26 “Muyimuse amaaso gammwe mutunule waggulu mulabe.
Ani yatonda ebintu ebyo?+
Y’Oyo aggyayo eggye lyabyo okusinziira ku muwendo gwabyo;
Byonna abiyita amannya.+
Olw’amaanyi ge amangi ennyo n’olw’amaanyi ge agawuniikiriza,+
Tewali na kimu ku byo kibulako.