7 Naye Yakuwa n’agamba Samwiri nti: “Totunuulira ndabika ye na buwanvu bwe,+ kubanga si gwe nnonze. Kubanga engeri abantu gye balabamu ebintu Katonda si bw’abiraba; abantu balaba ekyo amaaso gaabwe kye gasobola okulaba, naye Yakuwa alaba ekiri mu mutima.”+