-
Olubereberye 20:6Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 Awo Katonda ow’amazima n’amugamba mu kirooto nti: “Nange nkimanyi nti ekyo wakikola mu mutima mwesimbu, era nnakuziyiza oleme kwonoona mu maaso gange. Eyo ye nsonga lwaki saakuganya kumukwatako.
-
-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:16-18Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
16 Kyokka olwafuna amaanyi, n’afuna amalala mu mutima ne yeereetera emitawaana. Yakola ekintu ekitaali kya bwesigwa mu maaso ga Yakuwa Katonda we bwe yagenda mu yeekaalu ya Yakuwa okwotereza obubaani ku kyoto eky’okwotererezaako obubaani.+ 17 Amangu ago Azaliya kabona ng’ali wamu ne bakabona ba Yakuwa abalala, abasajja abazira 80, ne bayingira nga bamuvaako emabega. 18 Ne baŋŋanga Kabaka Uzziya ne bamugamba nti: “Uzziya, tosaanidde kwoterereza Yakuwa bubaani!+ Bakabona bokka be basaanidde okwotereza obubaani, kubanga be bazzukulu ba Alooni+ abaatukuzibwa. Va mu kifo ekitukuvu, kubanga okoze ekikolwa ekitali kya bwesigwa era Yakuwa Katonda tajja kukugulumiza olw’ekikolwa kino.”
-