Zabbuli 3:5 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 5 Nja kugalamira wansi nneebake;Era nja kuzuukuka nga situukiddwako kabi,Kubanga Yakuwa annyamba.+ Engero 3:24 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 24 Bw’oneebakanga tootyenga;+Oneebakanga, otulo two ne tukuwoomera.+ Engero 3:26 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 26 Kubanga obwesige bwo bujja kuba mu Yakuwa;+Ajja kukuuma ekigere kyo kireme kugwa mu mutego.+