7 Wa mukisa omuntu eyeesiga Yakuwa,
Assa obwesige bwe mu Yakuwa.+
8 Ajja kuba ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’amazzi,
Emirandira gyagwo ne giranda nga gidda awali omugga.
Tajja kutya omusana bwe gunaayaka ennyo,
Naye ebikoola bye bijja kweyongera obungi.+
Ne mu kiseera eky’ekyeya tajja kweraliikirira,
Era tajja kulekera awo kubala bibala.