-
Matayo 26:59-61Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
59 Mu kiseera ekyo, bakabona abakulu n’ab’Olukiiko Olukulu bonna baali banoonya obujulizi obw’obulimba bwe bandisinziddeko okutta Yesu.+ 60 Naye ne batabufuna wadde nga waaliwo abajulizi ab’obulimba bangi abajja.+ Oluvannyuma, ne wajjawo babiri 61 ne bagamba nti: “Omusajja ono yagamba nti, ‘Nsobola okumenya yeekaalu ya Katonda ne ngizimbira mu nnaku ssatu.’”+
-