2 Bassekabaka 6:17 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 17 Erisa n’asaba ng’agamba nti: “Ai Yakuwa, zibula amaaso ge alabe.”+ Amangu ago Yakuwa n’azibula amaaso g’omuweereza n’alaba, era laba! ekitundu eky’ensozi kyali kijjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro,+ nga byetoolodde Erisa.+ Zabbuli 91:11 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 11 Kubanga aliragira bamalayika be,+Okukukuuma mu makubo go gonna.+ Matayo 18:10 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 10 Temunyoomanga omu ku bato bano, kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe abali mu ggulu bulijjo babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.+ Abebbulaniya 1:7 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 7 Era ayogera bw’ati ku bamalayika: “Bamalayika be abafuula myoyo, n’abaweereza be+ abafuula nnimi za muliro.”+ Abebbulaniya 1:14 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 14 Bonna si myoyo egiweereza mu buweereza obutukuvu,+ egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi?
17 Erisa n’asaba ng’agamba nti: “Ai Yakuwa, zibula amaaso ge alabe.”+ Amangu ago Yakuwa n’azibula amaaso g’omuweereza n’alaba, era laba! ekitundu eky’ensozi kyali kijjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro,+ nga byetoolodde Erisa.+
10 Temunyoomanga omu ku bato bano, kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe abali mu ggulu bulijjo babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.+
7 Era ayogera bw’ati ku bamalayika: “Bamalayika be abafuula myoyo, n’abaweereza be+ abafuula nnimi za muliro.”+
14 Bonna si myoyo egiweereza mu buweereza obutukuvu,+ egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi?