Ekyamateeka 15:7, 8 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 7 “Omu ku baganda bo mu kimu ku bibuga byo mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’agenda okukuwa bw’ayavuwalanga, tokakanyazanga mutima gwo era tofunyanga ngalo zo eri muganda wo oyo omwavu.+ 8 Omwanjululizanga engalo zo+ n’omuwola bye yeetaaga oba by’atalina. Zabbuli 112:5 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 5 Omuntu ow’ekisa era awola abalala afuna ebirungi.+ י [Yodi] Ebintu bye abikola mu bwenkanya.
7 “Omu ku baganda bo mu kimu ku bibuga byo mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’agenda okukuwa bw’ayavuwalanga, tokakanyazanga mutima gwo era tofunyanga ngalo zo eri muganda wo oyo omwavu.+ 8 Omwanjululizanga engalo zo+ n’omuwola bye yeetaaga oba by’atalina.