-
Luusi 3:10, 11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
10 Bowaazi n’amugamba nti: “Yakuwa akuwe omukisa mwana wange. Okwagala okutajjulukuka kw’olaze ku nkomerero kusinze okwo kwe walaga mu kusooka,+ kubanga togenze kunoonya musajja mu bavubuka, ka babe baavu oba bagagga. 11 Kati nno mwana wange, totya. Byonna by’ogamba nja kubikukolera,+ kubanga abantu bonna mu kibuga bakimanyi* nti oli mukazi wa mpisa nnungi nnyo.
-