-
Danyeri 4:30-32Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
30 n’agamba nti: “Kino si ye Babulooni Ekinene kye nnazimba n’amaanyi gange okubaamu ennyumba y’obwakabaka, era kye nnazimba olw’ekitiibwa ky’obukulu bwange?”
31 Kabaka yali akyayogera, eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti: “Wulira ggwe Kabaka Nebukadduneeza, ‘Obwakabaka bukuggiddwako,+ 32 era ogenda kugobebwa mu bantu, obeerenga wamu n’ensolo ez’omu nsiko. Ogenda kulyanga muddo ng’ente, era ebiseera musanvu bigenda kukuyitako, okutuusa lw’olimanya nti Oyo Asingayo Okuba Waggulu y’Afuga mu bwakabaka bw’abantu, era nti abuwa oyo yenna gw’ayagala.’”+
-