LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 1 Samwiri 2:22-25
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 22 Eli yali akaddiye nnyo, naye yali awulidde ebyo byonna batabani be bye baakolanga+ Abayisirayiri bonna, era ne bwe beegattanga n’abakazi abaaweererezanga ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu.+ 23 Yabagambanga nti: “Lwaki mukola ebintu ng’ebyo? Ebintu bye mpulira abantu bonna bye baboogerako bibi. 24 Nedda baana bange, ebyo bye mpulira, ebiboogerwako mu bantu ba Yakuwa si birungi. 25 Omuntu bw’akola munne ekibi, omuntu omulala ayinza okwegayirira Yakuwa ku lulwe;* naye omuntu bw’ayonoona mu maaso ga Yakuwa,+ ani ayinza okumusabira?” Naye tebaawuliriza kitaabwe, era Yakuwa yali amaliridde okubatta.+

  • 1 Samwiri 8:1-3
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 8 Samwiri bwe yakaddiwa. n’alonda batabani be okuba abalamuzi ba Isirayiri. 2 Mutabani we omubereberye yali ayitibwa Yoweeri, ate ow’okubiri ng’ayitibwa Abiya;+ baali balamuzi mu Beeru-seba. 3 Naye batabani be tebaatambulira mu makubo ge; beefuniranga ebintu mu makubo amakyamu,+ baalyanga enguzi,+ era baasalirizanga nga basala emisango.+

  • 2 Samwiri 15:14
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 14 Amangu ago Dawudi n’agamba abaweereza be bonna abaali naye mu Yerusaalemi nti: “Musituke tudduke;+ kubanga tewajja kubaawo awona Abusaalomu! Mwanguwe, si kulwa ng’ayanguwa n’atutuukako n’atukolako akabi, n’atta n’ekitala abantu bonna ab’omu kibuga!”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share