14 Abantu bonna beeyisa mu ngeri etali ya magezi era etayoleka kumanya.
Abaweesi bonna bajja kuswala olw’ebifaananyi ebyole;+
Kubanga ebifaananyi byabwe eby’ebyuma bya bulimba,
Era tebiriimu mwoyo.+
15 Tebirina kye bigasa, era bigwana kusekererwa.+
Olunaku olw’okubisalira omusango bwe lulituuka birisaanawo.