-
1 Bassekabaka 18:26Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
26 Ne baddira ente eyali ebaweereddwa, ne bagikolako, ne bakoowoola erinnya lya Bbaali okuva ku makya okutuusa mu ttuntu, nga bagamba nti: “Ai Bbaali twanukule!” Kyokka ne wataba kanyego wadde abaanukula.+ Ne babuukabuuka nga bwe beetooloola ekyoto kye baali bazimbye.
-
-
Isaaya 37:37, 38Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
37 Awo Kabaka Sennakeribu owa Bwasuli n’avaayo, n’addayo e Nineeve,+ n’abeera eyo.+ 38 Lumu bwe yali avunnamye mu nnyumba* ya katonda we Nisuloki, batabani be bennyini, Adulammereki ne Salezeeri ne bamutta n’ekitala,+ ne baddukira mu kitundu ky’e Alalati.+ Mutabani we Esalu-kaddoni+ n’amusikira ku bwakabaka.
-