2 Amawanga mangi galigenda ne gagamba nti:
“Mujje twambuke ku lusozi lwa Yakuwa
Ku nnyumba ya Katonda wa Yakobo.+
Anaatuyigiriza amakubo ge,
Era tunaatambulira mu mpenda ze.”
Kubanga etteeka liriva mu Sayuuni,
N’ekigambo kya Yakuwa kiriva mu Yerusaalemi.