LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:20, 21
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 20 Abo bonna abaawona ekitala yabatwala e Babulooni+ ne bafuuka baweereza be+ era baweereza ba batabani be, okutuusa obwakabaka bwa Buperusi lwe bwatandika okufuga,+ 21 okutuukiriza ekigambo Yakuwa kye yayogera okuyitira mu Yeremiya,+ okutuusa ensi lwe yamala okusasula ssabbiiti zaayo.+ Ennaku zonna ze yamala ng’eri matongo yali ekwata ssabbiiti, etuukirize emyaka 70.+

  • Isaaya 49:14
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 14 Naye Sayuuni yagamba nti:

      “Yakuwa anjabulidde,+ era Yakuwa anneerabidde.”+

  • Yeremiya 30:17
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 17 “Naye nja kukussuusa era mponye ebiwundu byo,”+ Yakuwa bw’agamba,

      “Wadde nga bakuyita eyaboolebwa:

      ‘Sayuuni, atalina amunoonya.’”+

  • Okukungubaga 1:4
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  4 Enguudo ezigenda mu Sayuuni zikungubaga, olw’okuba tewali ajja ku mbaga.+

      Enzigi ze zonna zimenyese;+ bakabona be basinda.

      Abawala be embeerera banakuwavu, era naye ali mu bulumi bwa maanyi.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share