-
Nekkemiya 12:27Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
27 Bbugwe wa Yerusaalemi bwe yali agenda okutongozebwa, baanoonya Abaleevi mu bitundu byonna gye baali babeera ne babaleeta e Yerusaalemi batongoze bbugwe nga bajaganya, nga bayimba ennyimba ez’okwebaza,+ era nga bakuba ebitaasa n’ebivuga eby’enkoba n’entongooli.
-
-
Isaaya 61:3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
3 Okuwa abo abakungubagira Sayuuni bye beetaaga,
Okubawa eky’oku mutwe mu kifo ky’evvu,
Amafuta ag’okusanyuka mu kifo ky’okukungubaga,
Ekyambalo eky’okutendereza mu kifo ky’omutima omunakuwavu.
-