3 Aliramula amawanga mangi+
Era alitereeza ensonga ezikwata ku mawanga ag’amaanyi agali ewala.
Ebitala byabwe balibikolamu enkumbi,
N’amafumu gaabwe baligakolamu ebiwabyo.+
Eggwanga teririyimusa kitala eri ggwanga linnaalyo,
Era tebaliyiga kulwana nate.+
4 Buli muntu alituula wansi w’omuzabbibu gwe ne wansi w’omutiini gwe,+
Era tewalibaawo n’omu abatiisa,+
Kubanga akamwa ka Yakuwa ow’eggye ke kakyogedde.