19 Awo Labusake n’abagamba nti: “Mugambe Keezeekiya nti, ‘Bw’ati kabaka omukulu, kabaka wa Bwasuli bw’agamba: “Kiki kye weesiga?+ 20 Ogamba nti, ‘Nnina amagezi n’amaanyi ebinsobozesa okulwana olutalo,’ naye ebyo bigambo bugambo. Kale ani oyo gwe weesiga olyoke onjeemere?+