17 Era nkimanyi bulungi, Ai Katonda wange, nti okebera omutima+ era nti osanyukira obugolokofu.+ Mu bwesimbu bw’omutima gwange mpaddeyo ebintu bino byonna kyeyagalire, era nsanyuse nnyo okulaba abantu bo abali wano nga bawaayo ebiweebwayo gy’oli kyeyagalire.