17 Yawandiika n’amabaluwa+ okuvuma Yakuwa Katonda wa Isirayiri+ n’okumwogerako obubi ng’agamba nti: “Okufaananako bakatonda b’amawanga ag’omu nsi endala abataasobola kuwonya bantu baabwe mu mukono gwange,+ ne Katonda wa Keezeekiya tajja kuwonya bantu be mu mukono gwange.”