32 Awo Yeremiya n’addira omuzingo omulala n’aguwa Baluki omuwandiisi,+ mutabani wa Neriya, Yeremiya n’ayogera nga ye bw’aguwandiikamu byonna ebyali mu muzingo ogwasooka Kabaka Yekoyakimu owa Yuda gwe yayokya mu muliro.+ Ate era kwayongerwako n’ebigambo ebirala bingi ebiringa ebyo.