-
Ebikolwa 14:8-10Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
8 Mu Lusitula waaliyo omusajja eyazaalibwa ng’ebigere bye birema, era nga tatambulangako. 9 Omusajja oyo yali atudde ng’awuliriza Pawulo by’ayogera. Pawulo bwe yamutunuulira enkaliriza n’alaba ng’alina okukkiriza okumusobozesa okuwonyezebwa,+ 10 n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Situka oyimirire.” Omusajja n’abuuka n’atandika okutambula.+
-