2 Bassekabaka
24 Mu kiseera kya Yekoyakimu, Kabaka Nebukadduneeza+ owa Babulooni yalumba Yuda, Yekoyakimu n’afuuka omuweereza we okumala emyaka esatu, kyokka oluvannyuma n’amujeemera. 2 Awo Yakuwa n’atandika okusindikira Yekoyakimu ebibinja by’Abakaludaaya+ n’eby’Abasuuli n’eby’Abamowaabu n’eby’Abaamoni. Yabisindika bizikirize Yuda, nga Yakuwa bwe yayogera+ okuyitira mu baweereza be bannabbi. 3 Mazima ddala Yakuwa ye yalagira kibe bwe kityo ku Yuda, alyoke abaggye mu maaso ge+ olw’ebibi byonna Manase bye yakola,+ 4 n’olw’omusaayi gw’abantu abataaliko musango Manase gwe yayiwa,+ kubanga yali ajjuzizza Yerusaalemi omusaayi gw’abantu abataaliko musango, era Yakuwa teyali mwetegefu kusonyiwa.+
5 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Yekoyakimu, ebyo byonna bye yakola, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Yuda.+ 6 Awo Yekoyakimu n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe,+ mutabani we Yekoyakini n’amusikira ku bwakabaka.
7 Kabaka wa Misiri teyaddayo kuva mu nsi ye, olw’okuba kabaka wa Babulooni yali atutte ettwale lya kabaka wa Misiri lyonna,+ okuva ku Kiwonvu* ky’e Misiri+ okutuuka ku Mugga Fulaati.+
8 Yekoyakini+ yatandika okufuga ng’alina emyaka 18, era yafugira mu Yerusaalemi emyezi esatu.+ Nnyina yali ayitibwa Nekusita muwala wa Erunasani ow’e Yerusaalemi. 9 Yeeyongera okukola ebibi mu maaso ga Yakuwa, nga byonna bwe byali kitaawe bye yakola. 10 Mu kiseera ekyo, abaweereza ba Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni baalumba Yerusaalemi, era ekibuga ne kizingizibwa.+ 11 Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni yajja mu kibuga, ng’abaweereza be bakizingiza.
12 Kabaka Yekoyakini owa Yuda yeewaayo eri kabaka wa Babulooni+ awamu ne nnyina, n’abaweereza be, n’abaami be, era n’abakungu b’omu lubiri lwe;+ kabaka wa Babulooni n’atwala Yekoyakini mu buwambe mu mwaka ogw’omunaana ogw’obufuzi bwe.+ 13 Nga Yakuwa bwe yali agambye, Kabaka wa Babulooni yaggya mu nnyumba ya Yakuwa ne mu nnyumba ya* kabaka eby’obugagga byonna.+ Yatemaatema ebintu byonna ebya zzaabu ebyali mu yeekaalu ya Yakuwa+ Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yali akoze. 14 Yatwala mu buwaŋŋanguse abantu bonna ab’omu Yerusaalemi, abaami bonna,+ abalwanyi bonna ab’amaanyi, buli mukugu yenna mu by’emikono na buli muweesi*+—yatwala abantu 10,000 mu buwaŋŋanguse. Tewaasigala muntu okuggyako abantu b’omu nsi abaali basingayo okuba abaavu.+ 15 Bw’atyo n’atwala Yekoyakini+ mu buwaŋŋanguse e Babulooni;+ yatwala ne maama wa kabaka, ne bakyala ba kabaka, n’abakungu b’omu lubiri lwe, n’abasajja abatutumufu ab’omu nsi. Yabaggya mu Yerusaalemi n’abatwala mu buwaŋŋanguse e Babulooni. 16 Ate era kabaka wa Babulooni yatwala mu buwaŋŋanguse e Babulooni abalwanyi bonna akasanvu, era n’abakugu mu mirimu egy’emikono n’abaweesi* lukumi, nga bonna basajja ba maanyi abatendekeddwa okulwana. 17 Kabaka wa Babulooni yafuula Mattaniya kitaawe wa Yekoyakini omuto+ kabaka mu kifo kye, era n’akyusa erinnya lye n’amutuuma Zeddeekiya.+
18 Zeddeekiya yatandika okufuga ng’alina emyaka 21, era yafugira mu Yerusaalemi emyaka 11. Nnyina yali ayitibwa Kamutali+ muwala wa Yeremiya ow’e Libuna. 19 Yeeyongera okukola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa, nga byonna bwe byali Yekoyakimu bye yakola.+ 20 Ebyo byonna byatuuka ku Yerusaalemi ne ku Yuda olw’obusungu bwa Yakuwa, okutuusa lwe yabagoba mu maaso ge.+ Ate era Zeddeekiya yajeemera kabaka wa Babulooni.+