LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 66
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Okusinza okw’amazima n’okw’obulimba (1-6)

      • Sayuuni n’abaana be (7-17)

      • Abantu bakuŋŋaana okusinza mu Yerusaalemi (18-24)

Isaaya 66:1

Marginal References

  • +Mat 5:34, 35
  • +2By 6:18; Bik 17:24
  • +1By 28:2; Bik 7:48-50

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/1992, lup. 14-15

Isaaya 66:2

Footnotes

  • *

    Oba, “eyeeraliikirira.”

Marginal References

  • +Is 40:26
  • +2Sk 22:18, 19; Luk 18:14

Isaaya 66:3

Marginal References

  • +Is 1:11
  • +Lev 11:27
  • +Ma 14:8
  • +Lev 2:1, 2
  • +Is 1:13

Isaaya 66:4

Marginal References

  • +Ma 28:15
  • +Yer 7:13
  • +2Sk 21:9; Is 65:3

Isaaya 66:5

Footnotes

  • *

    Oba, “eyeeraliikirira.”

Marginal References

  • +Is 5:18, 19; 29:13
  • +Is 65:13, 14; Yer 17:13, 18

Isaaya 66:7

Marginal References

  • +Is 54:1

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/1995, lup. 17

Isaaya 66:8

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/15/2014, lup. 26

    1/1/1995, lup. 17

Isaaya 66:10

Marginal References

  • +Is 44:23
  • +Zb 137:6

Isaaya 66:12

Marginal References

  • +Is 9:7
  • +Is 60:3; Kag 2:7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    9/2018, lup. 13-14

Isaaya 66:13

Marginal References

  • +Is 51:3
  • +Is 44:28; 65:18, 19

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    9/2018, lup. 13-14

Isaaya 66:14

Footnotes

  • *

    Oba, “Amaanyi.”

Marginal References

  • +Is 59:18

Isaaya 66:15

Marginal References

  • +Ma 4:24
  • +Zb 50:3; Yer 25:32, 33
  • +2Se 1:7, 8

Isaaya 66:16

Footnotes

  • *

    Oba, “abantu bonna.”

Isaaya 66:17

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, ennimiro ezaakozesebwanga mu kusinza ebifaananyi.

Marginal References

  • +Is 1:29; 65:3
  • +Lev 11:7, 8; Is 65:4
  • +Lev 11:29

Isaaya 66:19

Marginal References

  • +Lub 10:4
  • +Lub 10:6, 13
  • +Lub 10:2; Ezk 27:12, 13
  • +Is 60:3; Mal 1:11

Isaaya 66:20

Marginal References

  • +Ma 30:1-3; Is 11:16; 43:6; 60:4, 9

Isaaya 66:22

Marginal References

  • +Is 65:17, 18; 2Pe 3:13; Kub 21:1
  • +Is 65:23; Yer 31:35, 36

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/2000, lup. 14-15

Isaaya 66:23

Footnotes

  • *

    Oba, “abantu bonna.”

  • *

    Oba, “okusinza.”

Marginal References

  • +Zb 86:9; Zek 14:16; Mal 1:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/2006, lup. 31

    5/1/2000, lup. 14-15

Isaaya 66:24

Marginal References

  • +Is 34:10; Mat 25:41; Mak 9:47, 48; 2Se 1:9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/15/2008, lup. 27

    5/1/2000, lup. 14, 15-16

General

Is. 66:1Mat 5:34, 35
Is. 66:12By 6:18; Bik 17:24
Is. 66:11By 28:2; Bik 7:48-50
Is. 66:2Is 40:26
Is. 66:22Sk 22:18, 19; Luk 18:14
Is. 66:3Is 1:11
Is. 66:3Lev 11:27
Is. 66:3Ma 14:8
Is. 66:3Lev 2:1, 2
Is. 66:3Is 1:13
Is. 66:4Ma 28:15
Is. 66:4Yer 7:13
Is. 66:42Sk 21:9; Is 65:3
Is. 66:5Is 5:18, 19; 29:13
Is. 66:5Is 65:13, 14; Yer 17:13, 18
Is. 66:7Is 54:1
Is. 66:10Is 44:23
Is. 66:10Zb 137:6
Is. 66:12Is 9:7
Is. 66:12Is 60:3; Kag 2:7
Is. 66:13Is 51:3
Is. 66:13Is 44:28; 65:18, 19
Is. 66:14Is 59:18
Is. 66:15Ma 4:24
Is. 66:15Zb 50:3; Yer 25:32, 33
Is. 66:152Se 1:7, 8
Is. 66:17Is 1:29; 65:3
Is. 66:17Lev 11:7, 8; Is 65:4
Is. 66:17Lev 11:29
Is. 66:19Lub 10:4
Is. 66:19Lub 10:6, 13
Is. 66:19Lub 10:2; Ezk 27:12, 13
Is. 66:19Is 60:3; Mal 1:11
Is. 66:20Ma 30:1-3; Is 11:16; 43:6; 60:4, 9
Is. 66:22Is 65:17, 18; 2Pe 3:13; Kub 21:1
Is. 66:22Is 65:23; Yer 31:35, 36
Is. 66:23Zb 86:9; Zek 14:16; Mal 1:11
Is. 66:24Is 34:10; Mat 25:41; Mak 9:47, 48; 2Se 1:9
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 66:1-24

Isaaya

66 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:

“Eggulu ye ntebe yange ey’obwakabaka, ate ensi ye ntebe y’ebigere byange.+

Kale nnyumba ya ngeri ki gye muyinza okunzimbira?+

Era ekifo kyange eky’okuwummuliramu kiri ludda wa?”+

 2 “Omukono gwange gwe gwakola ebintu bino byonna,

Era byonna bwe bityo bwe byatuuka okubaawo,” Yakuwa bw’agamba.+

“Kale ono gwe nja okutunuulira,

Omwetoowaze era alina omwoyo oguboneredde, akankana* olw’ekigambo kyange.+

 3 Oyo asala ente ennume alinga oyo atta omuntu.+

Oyo awaayo endiga ng’ekiweebwayo alinga oyo amenya ensingo y’embwa.+

Oyo awaayo ekirabo alinga oyo awaayo omusaayi gw’embizzi!+

Oyo awaayo obubaani obweru+ alinga oyo atendereza ekifaananyi.+

Balonzeewo amakubo gaabwe,

Era basanyukira ebintu ebyenyinyaza.

 4 Nja kusalawo engeri y’okubabonerezaamu,+

Era ebintu bye batya bye nja okubatuusaako.

Kubanga bwe nnayita, tewali n’omu yayitaba;

Bwe nnayogera, tewali n’omu yawuliriza.+

Baakolanga ebintu ebibi mu maaso gange,

Era baasalawo okukola ebintu ebitansanyusa.”+

 5 Wulira ekigambo kya Yakuwa ggwe akankana* olw’ekigambo kye:

“Baganda bo abatakwagala era abakuboola olw’erinnya lyange baagamba nti, ‘Yakuwa agulumizibwe!’+

Naye Katonda alirabika era alikuleetera okusanyuka,

Era bo be baliswala.”+

 6 Waliwo oluyoogaano mu kibuga, oluyoogaano mu yeekaalu!

Yakuwa asasula abalabe be ekyo ekibagwanira.

 7 Omukazi yali tannalumwa bisa, n’azaala.+

Yali tannalumwa kuzaala, n’azaala omwana ow’obulenzi.

 8 Ani yali awuliddeko ekintu ng’ekyo?

Ani yali alabye ku bintu ng’ebyo?

Ensi eyinza okuzaalibwa mu lunaku lumu?

Oba eggwanga liyinza okuzaalibwa omulundi gumu?

Kyokka Sayuuni olwali okulumwa ebisa, n’azaala abaana be.

 9 “Nnyinza okutuusa omwana okuzaalibwa ate ne simuganya kuzaalibwa?” Yakuwa bw’agamba.

“Oba okuggula nnabaana ate ne mmuggala?” Katonda wo bw’agamba.

10 Musanyukire wamu ne Yerusaalemi+ era mujaganyize wamu naye mmwe mmwenna abamwagala.+

Musanyukire nnyo wamu naye, mmwe mmwenna abamukungubagira,

11 Kubanga muliyonka ne mukkutira ddala amabeere ge ag’okubudaabuda,

Era mulinywera ddala ne musanyukira mu kitiibwa kye ekingi.

12 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:

“Laba mmuwa emirembe egikulukuta ng’omugga,+

N’ekitiibwa ky’amawanga ekiringa omugga ogwanjaala.+

Muliyonka era muliweekebwa,

Mulibuusibwabuusibwa ku maviivi.

13 Nga maama bw’abudaabuda omwana we,

Nange bwe ntyo bwe ndibabudaabuda;+

Era mulibudaabudibwa olwa Yerusaalemi.+

14 Kino mulikiraba emitima gyammwe ne gisanyuka,

Amagumba gammwe galitinta ng’omuddo omuto.

Omukono* gwa Yakuwa gulimanyibwa abaweereza be,

Naye alisunguwalira abalabe be.”+

15 “Kubanga Yakuwa alijja ng’omuliro,+

Era amagaali ge galinga kibuyaga,+

Alijja okwesasuza ng’alina obusungu bungi,

Okubonereza ng’akozesa ennimi z’omuliro.+

16 Kubanga Yakuwa alikozesa omuliro okutuukiriza omusango ogwasalibwa,

Alikozesa ekitala kye okutta bonna abalina omubiri;*

Era abo Yakuwa b’alitta baliba bangi.

17 “Abo abeetukuza era abeerongoosa okugenda mu nnimiro*+ nga bagoberera oyo ali mu makkati, abo abalya ennyama y’embizzi+ n’ebintu eby’omuzizo n’emmese,+ bonna balizikirira,” Yakuwa bw’agamba. 18 “Okuva bwe mmanyi ebikolwa byabwe n’ebirowoozo byabwe, ndijja ne nkuŋŋaanya abantu ab’amawanga gonna n’ennimi, era balijja ne balaba ekitiibwa kyange.”

19 “Nditeeka akabonero mu bo, era ndituma abamu ku abo abaddukira mu mawanga—abaddukira e Talusiisi,+ e Puli, n’e Ludi,+ abo abaleega omutego gw’obusaale, abaddukira e Tubali, e Yavani,+ ne mu bizinga ebiri ewala—abatawuliranga ku binkwatako oba abatalabanga ku kitiibwa kyange; balirangirira ekitiibwa kyange mu mawanga.+ 20 Balireeta baganda bammwe bonna okuva mu mawanga gonna+ ng’ekirabo eri Yakuwa; balibaleetera ku mbalaasi, mu magaali, mu bigaali ebibikkiddwako, ku nnyumbu, ne ku ŋŋamira ezidduka ennyo; balibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu, Yerusaalemi, ng’abantu ba Isirayiri bwe baleeta ekirabo kyabwe mu nnyumba ya Yakuwa nga kiri mu kibya ekirongoofu,” Yakuwa bw’agamba.

21 “Abamu ku bo ndibafuula bakabona ate abalala ndibafuula Abaleevi,” Yakuwa bw’agamba.

22 “Ng’eggulu eriggya n’ensi empya+ bye ntonda bwe birisigalawo mu maaso gange, ezzadde lyo n’erinnya lyo nabyo bwe bityo bwe birisigalawo,”+ Yakuwa bw’agamba.

23 “Okuva ku kuboneka kw’omwezi okutuuka ku kuboneka kw’omwezi, n’okuva ku ssabbiiti okutuuka ku ssabbiiti,

Bonna abalina omubiri* balijja okuvunnama* mu maaso gange,”+ Yakuwa bw’agamba.

24 “Era balifuluma ne batunuulira emirambo gy’abantu abanjeemera;

Kubanga envunyu eziribalya tezirifa,

N’omuliro ogulibookya tegulizikizibwa,+

Era baliba kintu ekyenyinyaza eri abantu bonna.”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share