Isaaya
22 Obubaka obukwata ku Kiwonvu eky’Okwolesebwa:*+
Kiki ekibatuuseeko ekibalinnyisizza mmwenna waggulu ku mayumba?
2 Wali ojjudde obukyankalano,
Wali kibuga ekijjudde oluyoogaano, ekibuga omwali okujaganya.
Abantu bo abattibwa tebattibwa na kitala,
Era tebaafiira mu lutalo.+
3 Bannaakyemalira bo bonna baddukira wamu.+
Baatwalibwa mu busibe ng’omutego gw’obusaale tegukozeseddwa.
Bonna abaasangibwa baatwalibwa mu busibe+
Wadde nga baali baddukidde wala nnyo.
4 Eyo ye nsonga lwaki nnagamba nti: “Temuntunuulira,
Nja kukaaba nnyo.+
Temumbudaabuda
Olw’okuzikirizibwa kwa muwala w’abantu bange.+
5 Kubanga lunaku lwa kutabulwatabulwa, lwa kuwangulwa, era lwa kubuna miwabo,+
Okuva eri Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye,
Mu Kiwonvu eky’Okwolesebwa.
Waliwo okumenya bbugwe+
N’okukuba omulanga eri olusozi.
7 Ebiwonvu byo ebisingayo obulungi
Birijjula amagaali ag’olutalo,
N’embalaasi ziriyimirira* mu mulyango,
8 Ekibikka ku* Yuda kiriggibwawo.
“Ku lunaku olwo mulitunula eri etterekero ly’eby’okulwanyisa ery’omu Nnyumba ey’Ekibira,+ 9 era muliraba ebituli bingi mu bbugwe w’Ekibuga kya Dawudi.+ Mulitereka amazzi g’omu kidiba eky’eky’emmanga.+ 10 Mulibala amayumba g’omu Yerusaalemi, era mulimenya amayumba okusobola okunyweza bbugwe. 11 Mulisima oluzzi wakati w’ebisenge ebibiri okussaamu amazzi g’omu kidiba ekikadde, naye temulitunuulira Katonda Omukulu eyabiteekawo, era temuliraba Oyo eyabitonda edda.
12 Ku lunaku olwo Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye,
Aliyita abantu okukaaba n’okukungubaga,+
Okumwa enviiri ku mutwe n’okwambala ebibukutu.
13 Naye mu kifo ky’ekyo waliwo kujaganya na kusanyuka,
Kutta nte na ndiga,
Kulya nnyama na kunywa mwenge.+
‘Ka tulye era tunywe, kubanga enkya tujja kufa.’”+
14 Bino Yakuwa ow’eggye bye yambikkulira: “‘Ekibi kino tekiritangirirwa okutuusa lwe mulifa,’+ Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye, bw’agamba.”
15 Bw’ati Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye, bw’agamba: “Genda eri omuwanika oyo, eri Sebuna,+ alabirira ennyumba,* omugambe nti, 16 ‘Oyagala ki wano era olinawo ani owuwo, otuuke n’okwesimira wano aw’okuziikibwa?’ Yeesimira aw’okuziikibwa mu kifo ekigulumivu; yeesimira entaana* mu lwazi. 17 ‘Laba! Yakuwa alikukasuka wansi n’amaanyi, musajja ggwe, era alikukwata lwa mpaka n’akunyweza. 18 Alikuzingako n’akunyweza n’akukasuka ng’omupiira mu nsi engazi. Eyo gy’olifiira, era eyo amagaali go ag’ekitiibwa gye galibeera, ne kiswaza ennyumba ya mukama wo. 19 Ndikuggya mu kifo kyo, era ndikuggyako omulimu gwo.
20 “‘Ku lunaku olwo ndiyita omuweereza wange Eriyakimu+ mutabani wa Kirukiya, 21 ne mmwambaza ekkanzu yo era ne mmusiba omusipi gwo ne ngunyweza;+ obuyinza bwo ndibuwaayo mu mukono gwe. Alifuuka taata eri abantu b’omu Yerusaalemi n’eri ennyumba ya Yuda. 22 Era nditeeka ekisumuluzo ky’ennyumba ya Dawudi+ ku kibegaabega kye. Aliggulawo ne wataba aggalawo; aliggalawo ne wataba aggulawo. 23 Ndimukomerera ng’omusumaali mu kifo ekinywevu, era aliba ng’entebe y’obwakabaka ey’ekitiibwa eri ennyumba ya kitaawe. 24 Era balimuwanikako ekitiibwa* kyonna eky’ennyumba ya kitaawe, abazzukulu n’ezzadde, ebibya ebitono byonna, ebibya ebyakula ng’ebbakuli, n’ensumbi zonna ennene.
25 “‘Ku lunaku olwo,’ Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘omusumaali ogwakomererwa mu kifo ekinywevu guliggibwamu,+ era gulisalibwa ne gugwa; n’ebintu bye gwali guwaniridde birigwa ne byonooneka, kubanga Yakuwa kennyini y’akyogedde.’”