LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Bassekabaka 12
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yekowaasi, kabaka wa Yuda (1-3)

      • Yekowaasi addaabiriza yeekaalu (4-16)

      • Abasuuli balumba Yerusaalemi (17, 18)

      • Yekowaasi attibwa (19-21)

2 Bassekabaka 12:1

Marginal References

  • +1Sk 19:16; 2Sk 10:30
  • +2Sk 11:2; 1By 3:10, 11
  • +2By 24:1, 2

2 Bassekabaka 12:3

Marginal References

  • +Kbl 33:52

2 Bassekabaka 12:4

Marginal References

  • +2By 31:12
  • +Kuv 30:13; 2By 24:9
  • +Kuv 25:2; 35:21

2 Bassekabaka 12:5

Footnotes

  • *

    Oba, “be bamanyi.”

  • *

    Oba, “buli awali enjatika.”

Marginal References

  • +2By 24:7

2 Bassekabaka 12:6

Marginal References

  • +2By 24:5

2 Bassekabaka 12:7

Marginal References

  • +2Sk 11:4; 2By 23:1; 24:15
  • +2By 24:6

2 Bassekabaka 12:9

Marginal References

  • +2By 24:8; Mak 12:41; Luk 21:1
  • +2By 24:10

2 Bassekabaka 12:10

Footnotes

  • *

    Oba, “nga bateeka mu nsawo.” Obut., “nga basiba.”

Marginal References

  • +2By 24:11

2 Bassekabaka 12:11

Marginal References

  • +2Sk 22:4-6; 2By 24:12

2 Bassekabaka 12:13

Marginal References

  • +Kbl 10:2; 2By 5:12
  • +2By 24:14

2 Bassekabaka 12:15

Marginal References

  • +2Sk 22:7

2 Bassekabaka 12:16

Marginal References

  • +Lev 5:15
  • +Lev 7:7; Kbl 18:8

2 Bassekabaka 12:17

Marginal References

  • +1Sk 19:15; 2Sk 8:13; 10:32
  • +1By 18:1
  • +2By 24:23

2 Bassekabaka 12:18

Footnotes

  • *

    Obut., “bitukuziddwa.”

  • *

    Oba, “ag’omu lubiri.”

Marginal References

  • +1Sk 15:18; 2Sk 16:8; 18:15

2 Bassekabaka 12:20

Footnotes

  • *

    Oba, “e Besi-millo.”

Marginal References

  • +2By 24:25, 26; 25:27
  • +2Sa 5:9; 1Sk 9:15, 24; 2By 32:5

2 Bassekabaka 12:21

Marginal References

  • +2Sk 14:1, 5
  • +2By 24:27

General

2 Bassek. 12:11Sk 19:16; 2Sk 10:30
2 Bassek. 12:12Sk 11:2; 1By 3:10, 11
2 Bassek. 12:12By 24:1, 2
2 Bassek. 12:3Kbl 33:52
2 Bassek. 12:42By 31:12
2 Bassek. 12:4Kuv 30:13; 2By 24:9
2 Bassek. 12:4Kuv 25:2; 35:21
2 Bassek. 12:52By 24:7
2 Bassek. 12:62By 24:5
2 Bassek. 12:72Sk 11:4; 2By 23:1; 24:15
2 Bassek. 12:72By 24:6
2 Bassek. 12:92By 24:8; Mak 12:41; Luk 21:1
2 Bassek. 12:92By 24:10
2 Bassek. 12:102By 24:11
2 Bassek. 12:112Sk 22:4-6; 2By 24:12
2 Bassek. 12:13Kbl 10:2; 2By 5:12
2 Bassek. 12:132By 24:14
2 Bassek. 12:152Sk 22:7
2 Bassek. 12:16Lev 5:15
2 Bassek. 12:16Lev 7:7; Kbl 18:8
2 Bassek. 12:171Sk 19:15; 2Sk 8:13; 10:32
2 Bassek. 12:171By 18:1
2 Bassek. 12:172By 24:23
2 Bassek. 12:181Sk 15:18; 2Sk 16:8; 18:15
2 Bassek. 12:202By 24:25, 26; 25:27
2 Bassek. 12:202Sa 5:9; 1Sk 9:15, 24; 2By 32:5
2 Bassek. 12:212Sk 14:1, 5
2 Bassek. 12:212By 24:27
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Bassekabaka 12:1-21

2 Bassekabaka

12 Mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa Yeeku,+ Yekowaasi+ yafuuka kabaka, era yafugira emyaka 40 mu Yerusaalemi. Nnyina yali ayitibwa Zibiya ow’e Beeru-seba.+ 2 Yekowaasi yeeyongera okukola ebirungi mu maaso ga Yakuwa ekiseera kyonna Yekoyaada kabona kye yamala ng’amuyigiriza. 3 Kyokka ebifo ebigulumivu+ tebyaggibwawo, era abantu baali bakyaweerayo ssaddaaka era nga bakyanyookereza omukka gwa ssaddaaka ku bifo ebyo.

4 Awo Yekowaasi n’agamba bakabona nti: “Mukwate ssente zonna ez’ebiweebwayo ebitukuvu+ ezireetebwa mu nnyumba ya Yakuwa, kwe kugamba, ssente z’omusolo buli muntu gw’awa,+ n’ezo bakabona ze bagerekera abantu ababa bakoze obweyamo, era n’ezo zonna omutima gw’omuntu ze guba gumukubirizza okuleeta mu nnyumba ya Yakuwa.+ 5 Bakabona bennyini bajja kuziggya ku abo abazibaleetera,* bazikozese okuddaabiriza ennyumba buli aweetaaga okuddaabirizibwa.”*+

6 Naye omwaka ogw’amakumi abiri mu esatu ogw’obufuzi bwa Kabaka Yekowaasi we gwatuukira, bakabona baali tebannaddaabiriza nnyumba ya Katonda.+ 7 Awo Kabaka Yekowaasi n’ayita Yekoyaada+ kabona ne bakabona abalala n’abagamba nti: “Lwaki temuddaabiriza nnyumba ya Katonda? Kale temuddamu kuggya ssente ku abo abazibaleetera, okuggyako nga zigenda kukozesebwa okuddaabiriza ennyumba.”+ 8 Awo bakabona ne bakkiriza obutaddamu kuggya ssente ku bantu era n’obuvunaanyizibwa obw’okuddaabiriza ennyumba ne babweggyako.

9 Awo Yekoyaada kabona n’afuna essanduuko+ n’awummula ekituli mu kisaanikira kyayo, n’agiteeka ku mabbali g’ekyoto ku luuyi olwa ddyo ng’oyingira mu nnyumba ya Yakuwa. Omwo bakabona abaakuumanga ku miryango mwe baateekanga ssente zonna ezaaleetebwanga mu nnyumba ya Yakuwa.+ 10 Buli lwe baalabanga nga mu ssanduuko mulimu ssente nnyingi, ng’omuwandiisi wa kabaka ne kabona asinga obukulu bajja nga bakuŋŋaanya* ssente ezaabanga zireeteddwa mu nnyumba ya Yakuwa, nga bazibala.+ 11 Ssente ezaabanga zibaliddwa baazikwasanga abo abaali balondeddwa okulabirira omulimu ogwali gukolebwa ku nnyumba ya Yakuwa, abo ne bazisasula ababazzi n’abazimbi abaali bakola ku nnyumba ya Yakuwa,+ 12 n’abazimbisa amayinja, era n’abo abaali bagatema. Ate era baazikozesanga okugula emiti n’amayinja amateme eby’okuddaabiriza ennyumba ya Yakuwa, era n’okusasulira ebirala byonna ebyali byetaagisa mu kuddaabiriza ennyumba.

13 Naye tewaali ssente ezaaleetebwanga mu nnyumba ya Yakuwa ezaakozesebwa okukola bbenseni eza ffeeza, n’ebizikiza omuliro, n’ebbakuli, n’amakondeere,+ n’ebintu ebya zzaabu oba ffeeza ebyali bikozesebwa mu nnyumba ya Yakuwa.+ 14 Baaziwanga abo bokka abaali bakola omulimu, ne bazikozesa okuddaabiriza ennyumba ya Yakuwa. 15 Abantu abo be baakwasanga ssente okusasula abakozi tebaabagambanga kunnyonnyola ngeri gye baabanga bazikozesezzaamu, olw’okuba baali beesigika.+ 16 Naye ssente ez’ebiweebwayo olw’omusango+ n’ez’ebiweebwayo olw’ekibi, tezaatwalibwanga mu nnyumba ya Yakuwa; zaabanga za bakabona.+

17 Mu kiseera ekyo, Kazayeeri+ kabaka wa Busuuli yalumba Gaasi+ n’akiwamba, oluvannyuma n’asalawo okulumba Yerusaalemi.+ 18 Awo Kabaka Yekowaasi owa Yuda n’addira ebintu byonna ebitukuvu ebyali biweereddwayo* Yekosafaati ne Yekolaamu ne Akaziya bajjajjaabe, abaali bakabaka ba Yuda, era n’ebyo ye yennyini bye yali awaddeyo, ne zzaabu yenna eyali mu mawanika ag’omu nnyumba ya Yakuwa ne mu mawanika ag’omu nnyumba* ya kabaka, n’abiweereza Kazayeeri kabaka wa Busuuli,+ Kazayeeri n’atalwanyisa Yerusaalemi.

19 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Yekowaasi, ebyo byonna bye yakola, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Yuda. 20 Kyokka abaweereza be baamwekobaanira+ ne bamuttira awaali ennyumba y’Ekifunvu,*+ ku kkubo eriserengeta e Sira. 21 Abaweereza be Yozakali mutabani wa Simeyaasi ne Yekozabadi mutabani wa Someri, be baamutta.+ Baamuziika ne bajjajjaabe mu Kibuga kya Dawudi, era Amaziya mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share