LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yeremiya 43
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Abantu bajeema ne bagenda e Misiri (1-7)

      • Yakuwa ayogera ne Yeremiya ng’ali e Misiri (8-13)

Yeremiya 43:2

Marginal References

  • +Yer 41:16; 42:1-3

Yeremiya 43:3

Marginal References

  • +Yer 36:4; 45:1
  • +Yer 38:4, 6

Yeremiya 43:5

Marginal References

  • +Yer 40:11, 12

Yeremiya 43:6

Marginal References

  • +Yer 39:10
  • +2Sk 25:22
  • +2By 34:20, 21; Yer 26:24
  • +2Sk 22:8

Yeremiya 43:7

Marginal References

  • +Yer 2:14, 16; 44:1; Ezk 30:4, 18

Yeremiya 43:10

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Yer 21:2.

Marginal References

  • +Yer 25:9; 27:6; Ezk 29:19, 20
  • +Dan 2:21; 5:18

Yeremiya 43:11

Marginal References

  • +Yer 25:17, 19; 46:13; Ezk 29:19; 30:4, 18
  • +Yer 44:13; Ezk 5:12

Yeremiya 43:12

Footnotes

  • *

    Oba, “yeekaalu.”

  • *

    Oba, “nga tatuukiddwako kabi.”

Marginal References

  • +Yer 46:25

Yeremiya 43:13

Footnotes

  • *

    Oba, “Ennyumba (Yeekaalu) y’Enjuba,” kwe kugamba, Keriyopolisi.

  • *

    Oba, “yeekaalu.”

General

Yer. 43:2Yer 41:16; 42:1-3
Yer. 43:3Yer 36:4; 45:1
Yer. 43:3Yer 38:4, 6
Yer. 43:5Yer 40:11, 12
Yer. 43:6Yer 39:10
Yer. 43:62Sk 25:22
Yer. 43:62By 34:20, 21; Yer 26:24
Yer. 43:62Sk 22:8
Yer. 43:7Yer 2:14, 16; 44:1; Ezk 30:4, 18
Yer. 43:10Yer 25:9; 27:6; Ezk 29:19, 20
Yer. 43:10Dan 2:21; 5:18
Yer. 43:11Yer 25:17, 19; 46:13; Ezk 29:19; 30:4, 18
Yer. 43:11Yer 44:13; Ezk 5:12
Yer. 43:12Yer 46:25
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yeremiya 43:1-13

Yeremiya

43 Yeremiya bwe yamala okutegeeza abantu bonna ebigambo bino byonna ebyava eri Yakuwa Katonda waabwe, buli kigambo Yakuwa Katonda waabwe kye yali amutumye okubategeeza, 2 Azaliya mutabani wa Kosaaya, Yokanani+ mutabani wa Kaleya, n’abasajja bonna ab’amalala ne bagamba Yeremiya nti: “By’oyogera bya bulimba! Yakuwa Katonda waffe takutumye kutugamba nti, ‘Temugenda Misiri kubeera eyo.’ 3 Baluki+ mutabani wa Neriya y’akutuwendulidde otuweeyo eri Abakaludaaya, batutte oba batutwale mu buwaŋŋanguse e Babulooni.”+

4 Bwe batyo Yokanani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye bonna n’abantu bonna ne batagondera ddoboozi lya Yakuwa okusigala mu nsi ya Yuda. 5 Mu kifo ky’ekyo, Yokanani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye bonna ne bagenda n’abantu b’omu Yuda abaali basigaddewo abaakomawo okubeera mu Yuda nga bava mu mawanga gonna gye baali baasaasaanyizibwa.+ 6 Baatwala abasajja, abakazi, abaana, bawala ba kabaka, na buli muntu Nebuzaladaani+ eyali akulira abakuumi gwe yali alekedde Gedaliya+ mutabani wa Akikamu+ mutabani wa Safani,+ awamu ne nnabbi Yeremiya ne Baluki mutabani wa Neriya. 7 Baagenda mu nsi ya Misiri, kubanga tebaagondera ddoboozi lya Yakuwa, era baatuuka n’e Tapanesi.+

8 Awo Yakuwa n’ayogera ne Yeremiya ng’ali mu Tapanesi n’amugamba nti: 9 “Ddira amayinja abiri amanene ogakweke mu matoffaali g’olubalaza awayingirirwa mu nnyumba ya Falaawo mu Tapanesi, ng’abasajja Abayudaaya balaba. 10 Ojja kubagamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye Katonda wa Isirayiri bw’agamba: “Laba ntumya Nebukadduneeza* kabaka wa Babulooni omuweereza wange,+ era nja kuteeka entebe ye ey’obwakabaka ku mayinja gano ge nkwese, era ajja kusimba weema ye ey’obwakabaka ebikke ku mayinja gano.+ 11 Ajja kugenda alumbe ensi ya Misiri.+ Ow’okufa endwadde ez’amaanyi ajja kufa endwadde ez’amaanyi, ow’okuwambibwa ajja kuwambibwa, ow’okufa ekitala ajja kufa kitala.+ 12 Nja kukuma omuliro ku nnyumba* za bakatonda b’e Misiri,+ era ajja kuzookya abatwale mu buwambe. Ajja kwambala ensi ya Misiri ng’omusumba bw’ayambala ekyambalo kye, era ajja kuvaayo mirembe.* 13 Ajja kumenyaamenya empagi z’e Besu-semesi* mu nsi ya Misiri, era ajja kwokya ennyumba* za bakatonda b’e Misiri omuliro.”’”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share