LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ezeekyeri 38
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Googi alumba Isirayiri (1-16)

      • Yakuwa asunguwalira Googi (17-23)

        • ‘Amawanga galimanya nti nze Yakuwa’ (23)

Ezeekyeri 38:2

Marginal References

  • +Ezk 38:15
  • +Is 66:19; Ezk 27:13; 32:26
  • +Ezk 39:1

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    5/2020, lup. 15

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    9/2019, lup. 11

    Okusinza Okulongoofu, lup. 182-183, 240

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2007, lup. 21

    3/1/1997, lup. 24

    12/1/1988, lup. 18

Ezeekyeri 38:4

Footnotes

  • *

    Engabo entono zaateranga kukwatibwa balasi ba busaale.

Marginal References

  • +2Sk 19:20, 28; Ezk 29:3, 4; 39:2
  • +Ezk 38:15

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 187, 194-195

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 283

Ezeekyeri 38:5

Marginal References

  • +1By 1:8

Ezeekyeri 38:6

Marginal References

  • +Lub 10:2, 3; Ezk 27:14
  • +Ezk 39:2

Ezeekyeri 38:7

Footnotes

  • *

    Obut., “ggwe ojja okuba omukuumi waabwe.”

Ezeekyeri 38:8

Footnotes

  • *

    Oba, “oliyitibwa.”

Marginal References

  • +Yer 23:5, 6; Ezk 28:25, 26; 34:25

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 183-186

Ezeekyeri 38:10

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 186-188

Ezeekyeri 38:11

Marginal References

  • +Kuv 15:9

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 187-188, 240

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/15/2015, lup. 29-30

    12/1/1988, lup. 18

Ezeekyeri 38:12

Marginal References

  • +Yer 33:12
  • +Zek 10:8
  • +Is 60:5; 61:6

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 187-188

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 283-285

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/1994, lup. 15

Ezeekyeri 38:13

Marginal References

  • +Ezk 27:22
  • +Ezk 27:15
  • +Ezk 27:25

Ezeekyeri 38:14

Marginal References

  • +Ezk 38:8

Ezeekyeri 38:15

Marginal References

  • +Ezk 39:2
  • +Zef 3:8

Ezeekyeri 38:16

Marginal References

  • +Yow. 3:2
  • +Kuv 14:4; 2Sk 19:17-19; Zb 83:17, 18; Ezk 39:21

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2015, lup. 19

    9/15/2012, lup. 5-6

    3/15/2009, lup. 18-19

    12/1/1988, lup. 18

Ezeekyeri 38:18

Marginal References

  • +Yow. 3:16; Nak 1:2; Zek 2:8

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 189-192, 194-199

Ezeekyeri 38:20

Marginal References

  • +Nak 1:5

Ezeekyeri 38:21

Marginal References

  • +2By 20:23; Kag 2:22; Zek 14:13

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 198

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 18

Ezeekyeri 38:22

Footnotes

  • *

    Oba, “ndiwoza naye.”

Marginal References

  • +Zek 14:12
  • +Yer 25:31
  • +Kuv 9:22; Yos 10:11
  • +Is 30:30
  • +Lub 19:24

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 18

Ezeekyeri 38:23

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 18

General

Ezk. 38:2Ezk 38:15
Ezk. 38:2Is 66:19; Ezk 27:13; 32:26
Ezk. 38:2Ezk 39:1
Ezk. 38:42Sk 19:20, 28; Ezk 29:3, 4; 39:2
Ezk. 38:4Ezk 38:15
Ezk. 38:51By 1:8
Ezk. 38:6Lub 10:2, 3; Ezk 27:14
Ezk. 38:6Ezk 39:2
Ezk. 38:8Yer 23:5, 6; Ezk 28:25, 26; 34:25
Ezk. 38:11Kuv 15:9
Ezk. 38:12Yer 33:12
Ezk. 38:12Zek 10:8
Ezk. 38:12Is 60:5; 61:6
Ezk. 38:13Ezk 27:22
Ezk. 38:13Ezk 27:15
Ezk. 38:13Ezk 27:25
Ezk. 38:14Ezk 38:8
Ezk. 38:15Ezk 39:2
Ezk. 38:15Zef 3:8
Ezk. 38:16Yow. 3:2
Ezk. 38:16Kuv 14:4; 2Sk 19:17-19; Zb 83:17, 18; Ezk 39:21
Ezk. 38:18Yow. 3:16; Nak 1:2; Zek 2:8
Ezk. 38:20Nak 1:5
Ezk. 38:212By 20:23; Kag 2:22; Zek 14:13
Ezk. 38:22Zek 14:12
Ezk. 38:22Yer 25:31
Ezk. 38:22Kuv 9:22; Yos 10:11
Ezk. 38:22Is 30:30
Ezk. 38:22Lub 19:24
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ezeekyeri 38:1-23

Ezeekyeri

38 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu, amaaso go goolekeze Googi ow’omu nsi y’e Magoogi,+ akulira abaami b’e Meseki ne Tubali,+ olangirire ebinaamutuukako.+ 3 Gamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Ndi mulabe wo ggwe Googi, omwami akulira abaami b’e Meseki ne Tubali. 4 Ndikukyusa ne nteeka amalobo mu mba zo+ ne nkuggyayo ggwe n’eggye lyo lyonna eddene,+ n’embalaasi zo n’abasajja abazeebagala, nga bonna bambadde ebyambalo eby’ekitiibwa, ekibiina ekinene, nga balina engabo ennene n’entono,* era nga bonna bakutte ebitala; 5 Abaperusi, Abeesiyopiya, n’Abaputi+ bali wamu nabo, era bonna balina engabo entono ne sseppeewo; 6 Gomeri n’abasirikale be bonna, ab’ennyumba ya Togaluma+ abava mu bitundu eby’ebukiikakkono ebisingayo okuba eby’ewala, awamu n’abasirikale baabwe bonna—amawanga mangi gali naawe.+

7 “‘“Weeteeketeeke ggwe n’amagye go gonna agali naawe, era ggwe ojja okubaduumira.*

8 “‘“Nga wayiseewo ennaku nnyingi, olikeberebwa.* Mu myaka egisembayo olirumba ensi y’abantu abaawona ekitala ne bakomawo ewaboobwe, abaggibwa mu mawanga mangi ne bakuŋŋaanyizibwa ku nsozi za Isirayiri ezaali zaafuuka edda amatongo. Abantu ababeera mu nsi eyo baggibwa mu mawanga ne bakomezebwawo, era bonna bali mu mirembe.+ 9 Ggwe n’abasirikale bo bonna n’amawanga mangi agaliba naawe, mulibalumba ng’embuyaga, ne mubikka ensi yaabwe ng’ebire.”’

10 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Ku lunaku olwo ebirowoozo birijja mu mutima gwo, era olikola olukwe. 11 Oligamba nti: “Nja kulumba ensi erimu ebyalo ebitaliiko bbugwe.+ Nja kulumba abo abali mu mirembe abatalina kibatawaanya; bonna abali mu byalo ebitaliiko bbugwe wadde enzigi n’ebisiba.” 12 Oliba n’ekigendererwa eky’okufuna omunyago mungi, okulumba ebifo ebyafuuka amatongo kaakano ebirimu abantu,+ n’okulumba abantu abakuŋŋaanyiziddwa okuva mu mawanga,+ abafunye eby’obugagga n’ebintu ebirala,+ abo ababeera wakati mu nsi.

13 “‘Seba+ ne Dedani,+ abasuubuzi b’e Talusiisi,+ n’abalwanyi baakyo bonna balikubuuza nti: “Olumba ofune omunyago mungi? Okuŋŋaanyizza eggye lyo otwale ffeeza ne zzaabu, otwale ebintu n’eby’obugagga, otwale omunyago mungi nnyo?”’

14 “Kale omwana w’omuntu, langirira era ogambe Googi nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Ekiseera abantu bange Abayisirayiri lwe baliba nga bali mu mirembe, tolikimanya?+ 15 Oliva eyo gy’obeera, mu bitundu eby’ebukiikakkono ebisingayo okuba eby’ewala,+ ggwe n’abantu bangi, nga bonna beebagadde embalaasi, ekibiina ekinene, eggye eddene.+ 16 Olirumba abantu bange Abayisirayiri ng’olinga ekire ekibisse ensi. Mu nnaku ezisembayo ndikuleeta n’olumba ensi yange,+ amawanga galyoke gammanye bwe ndyetukuza mu maaso gaabwe okuyitira mu ggwe Googi.”’+

17 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Si ggwe wuuyo gwe nnayogerako edda okuyitira mu baweereza bange, bannabbi ba Isirayiri, abaalangirira okumala emyaka mingi nti olireetebwa okubalumba?’

18 “‘Ku lunaku olwo, olunaku Googi lw’alirumba ensi ya Isirayiri,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘obusungu bwange obungi bulibuubuuka.+ 19 Mu busungu bwange, mu muliro ogw’ekiruyi kyange nja kwogera; era ku lunaku olwo walibaawo musisi ow’amaanyi mu nsi ya Isirayiri. 20 Ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ebinyonyi ebibuuka mu bbanga, n’ensolo ez’omu nsiko, n’ebintu byonna ebyewalulira wansi, n’abantu bonna abali ku nsi birikankana ku lwange, n’ensozi zirisuulibwa wansi,+ obukulungujjo buligwa, era na buli bbugwe alimenyeka n’agwa wansi ku ttaka.’

21 “‘Nditumya ekitala ne kimulwanyisa ku nsozi zange zonna,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. ‘Buli muntu alirwanyisa munne.+ 22 Ndimusalira omusango.* Ndimusindikira endwadde+ ye n’eggye lye. Omusaayi mungi guliyiibwa; ye n’eggye lye n’amawanga amangi agaliba naye+ ndibatonnyessaako nnamutikkwa w’enkuba, omuzira,+ omuliro,+ n’amayinja agookya.+ 23 Ndyegulumiza, ne nneetukuza, era ne nneemanyisa mu maaso g’amawanga mangi; era balimanya nti nze Yakuwa.’

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share