LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Omubuulizi 10
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Obusirusiru obutonotono bubuutikira amagezi (1)

      • Akabi akali mu butakola bulungi bintu (2-11)

      • Obuzibu abasirusiru bwe babaamu (12-15)

      • Obusirusiru bw’abafuzi (16-20)

        • Ekinyonyi kiyinza okuddamu bye wayogedde (20)

Omubuulizi 10:1

Marginal References

  • +Kbl 20:10, 12; 2Sa 12:9-11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2006, lup. 32

Omubuulizi 10:2

Footnotes

  • *

    Obut., “guba ku mukono gwe ogwa ddyo.”

  • *

    Obut., “guba ku mukono gwe ogwa kkono.”

Marginal References

  • +Nge 14:8; 17:16

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2006, lup. 31

Omubuulizi 10:3

Footnotes

  • *

    Obut., “omutima gwe tegubaamu magezi.”

Marginal References

  • +Nge 10:23
  • +Nge 13:16; 18:7

Omubuulizi 10:4

Footnotes

  • *

    Obut., “Omwoyo; Omukka.”

Marginal References

  • +Mub 8:2, 3
  • +1Sa 25:23, 24; Nge 25:15

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2006, lup. 32

Omubuulizi 10:5

Marginal References

  • +1Sa 26:21; 1Sk 12:13, 14

Omubuulizi 10:6

Footnotes

  • *

    Obut., “abagagga.”

Omubuulizi 10:7

Marginal References

  • +Nge 30:21-23

Omubuulizi 10:8

Marginal References

  • +Nge 26:27

Omubuulizi 10:9

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “alina okuzeegendereza.”

Omubuulizi 10:10

Indexes

  • Research Guide

    Zuukuka!,

    2/2014,

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2000, lup. 25

Omubuulizi 10:12

Marginal References

  • +1Sk 10:6, 8; Zb 37:30; Luk 4:22; Bef 4:29
  • +Zb 64:2, 8; Nge 10:14, 21; 14:3

Omubuulizi 10:13

Marginal References

  • +1Sa 25:10, 11

Omubuulizi 10:14

Marginal References

  • +Nge 10:19; 15:2
  • +Nge 27:1; Mub 6:12; Yak 4:13, 14

Omubuulizi 10:15

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2006, lup. 31

Omubuulizi 10:16

Marginal References

  • +2By 13:7; 36:9

Omubuulizi 10:17

Marginal References

  • +Nge 31:4, 5

Omubuulizi 10:18

Marginal References

  • +Nge 21:25; 24:33, 34

Omubuulizi 10:19

Footnotes

  • *

    Oba, “Emmere efumbibwa.”

Marginal References

  • +Zb 104:15; Mub 9:7
  • +Mub 7:12

Omubuulizi 10:20

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “ku kitanda kyo.”

  • *

    Obut., “tokolimiranga.”

  • *

    Obut., “ekitonde ekibuuka eky’omu bbanga.”

  • *

    Oba, “obubaka.”

Marginal References

  • +Kuv 22:28

General

Mub. 10:1Kbl 20:10, 12; 2Sa 12:9-11
Mub. 10:2Nge 14:8; 17:16
Mub. 10:3Nge 10:23
Mub. 10:3Nge 13:16; 18:7
Mub. 10:4Mub 8:2, 3
Mub. 10:41Sa 25:23, 24; Nge 25:15
Mub. 10:51Sa 26:21; 1Sk 12:13, 14
Mub. 10:7Nge 30:21-23
Mub. 10:8Nge 26:27
Mub. 10:121Sk 10:6, 8; Zb 37:30; Luk 4:22; Bef 4:29
Mub. 10:12Zb 64:2, 8; Nge 10:14, 21; 14:3
Mub. 10:131Sa 25:10, 11
Mub. 10:14Nge 10:19; 15:2
Mub. 10:14Nge 27:1; Mub 6:12; Yak 4:13, 14
Mub. 10:162By 13:7; 36:9
Mub. 10:17Nge 31:4, 5
Mub. 10:18Nge 21:25; 24:33, 34
Mub. 10:19Zb 104:15; Mub 9:7
Mub. 10:19Mub 7:12
Mub. 10:20Kuv 22:28
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Omubuulizi 10:1-20

Omubuulizi

10 Ng’ensowera enfu bwe zireetera amafuta ag’akaloosa okwonooneka ne gawunya bubi, n’obusirusiru obutonotono bubuutikira amagezi g’omuntu n’ekitiibwa kye.+

2 Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumutwala mu kkubo ettuufu,* naye omutima gw’omusirusiru gumutwala mu kkubo ekkyamu.*+ 3 Mu makubo ge gonna, omusirusiru tayoleka magezi,*+ era alaga abantu bonna nga bw’ali omusirusiru.+

4 Obusungu* bw’omufuzi bwe bukubuubuukira, tova mu kifo ky’olimu,+ kubanga obukkakkamu buziyiza ebibi eby’amaanyi.+

5 Waliwo ekintu eky’ennaku kye ndabye wansi w’enjuba, ye nsobi abali mu buyinza gye bakola:+ 6 Abasirusiru bateekebwa mu bifo ebya waggulu, naye abalina obusobozi* ne bateekebwa mu bifo ebya wansi.

7 Ndabye abaweereza nga beebagadde embalaasi, kyokka ng’abakungu batambuza bigere ng’abaweereza.+

8 Omuntu asima ekinnya ayinza okukigwamu;+ n’oyo amenya ekisenge ky’amayinja omusota guyinza okumubojja.

9 Omuntu asima amayinja gayinza okumutuusaako akabi, era n’oyo ayasa enku ziyinza okumutuusaako akabi.*

10 Embazzi bw’eba terina bwogi n’etawagalwa, agikozesa alina okukozesa amaanyi mangi. Naye amagezi gayamba omuntu okutuuka ku buwanguzi.

11 Omusota bwe gubojja omuntu nga tegunnalogebwa guleme kubojja, aloga emisota aba takyagasa.

12 Ebigambo ebiva mu kamwa k’omuntu ow’amagezi bisanyusa,+ naye emimwa gy’omusirusiru gimuzikiriza.+ 13 Ebigambo ebisooka okuva mu kamwa ke bya busirusiru,+ n’ebigambo ebisembayo okuva mu kamwa ke ddalu ery’akabi. 14 Kyokka omusirusiru yeeyongera bweyongezi kwogera.+

Omuntu tamanyi binaabaawo; ani ayinza okumubuulira ebinaabaawo ng’amaze okufa?+

15 Okufuba kw’omusirusiru kumukooya, n’atasobola na kumanya kkubo lya kuyitamu kutuuka mu kibuga.

16 Ensi eba mu buzibu kabaka waayo bw’aba nga mulenzi muto,+ ate nga n’abakungu baayo bakeera kulya bijjulo. 17 Ensi eba bulungi, kabaka waayo bw’aba nga mwana w’abakungu, era nga n’abakungu baayo baliira mu kiseera ekituufu okusobola okufuna amaanyi, so si kutamiira.+

18 Olw’obugayaavu obungi, akasolya kagwamu, era n’ennyumba etonnya lwa kulera ngalo.+

19 Omugaati gufumbibwa* kuleeta nseko, n’omwenge guleeta essanyu mu bulamu,+ naye ssente zikola ku byetaago byonna.+

20 Tokolimiranga kabaka wadde mu birowoozo byo,*+ era toyogeranga bubi ku* bagagga ng’oli mu kisenge kyo, kubanga ekinyonyi* kiyinza okutwala eddoboozi lyo,* era ekitonde ekirina ebiwaawaatiro kiyinza okuddamu bye wayogedde.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share