LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Okubikkulirwa 10
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Malayika ow’amaanyi ng’akutte omuzingo omutono (1-7)

        • “Tewajja kubaawo kulwa nate” (6)

        • Ekyama ekitukuvu kya kukomekkerezebwa (7)

      • Yokaana alya omuzingo omutono (8-11)

Okubikkulirwa 10:1

Footnotes

  • *

    Oba, “nga yeezingiridde.”

  • *

    Obut., “ebigere bye.”

Marginal References

  • +Mat 17:1, 2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/1989, lup. 6

Okubikkulirwa 10:3

Marginal References

  • +Kub 5:5
  • +Kuv 19:16; Kub 4:5; 11:19

Okubikkulirwa 10:4

Marginal References

  • +Kub 10:8

Okubikkulirwa 10:6

Marginal References

  • +Zb 90:2; Kub 4:9
  • +Kuv 20:11; Nek 9:6; Zb 146:6

Okubikkulirwa 10:7

Marginal References

  • +Kub 8:6
  • +Kub 11:15
  • +Mak 4:11
  • +Am 3:7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/1990, lup. 12

    7/1/1989, lup. 11

    1/1/1989, lup. 6-7

Okubikkulirwa 10:8

Marginal References

  • +Kub 10:4
  • +Kub 10:1, 2

Okubikkulirwa 10:9

Marginal References

  • +Ezk 2:8

Okubikkulirwa 10:10

Marginal References

  • +Yer 15:16
  • +Zb 119:103; Ezk 3:1-3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/1989, lup. 6

General

Kub. 10:1Mat 17:1, 2
Kub. 10:3Kub 5:5
Kub. 10:3Kuv 19:16; Kub 4:5; 11:19
Kub. 10:4Kub 10:8
Kub. 10:6Zb 90:2; Kub 4:9
Kub. 10:6Kuv 20:11; Nek 9:6; Zb 146:6
Kub. 10:7Kub 8:6
Kub. 10:7Kub 11:15
Kub. 10:7Mak 4:11
Kub. 10:7Am 3:7
Kub. 10:8Kub 10:4
Kub. 10:8Kub 10:1, 2
Kub. 10:9Ezk 2:8
Kub. 10:10Yer 15:16
Kub. 10:10Zb 119:103; Ezk 3:1-3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Okubikkulirwa 10:1-11

Okubikkulirwa

10 Ne ndaba malayika omulala ow’amaanyi ng’akka okuva mu ggulu, ng’ayambadde* ekire, ku mutwe gwe nga kuliko musoke, obwenyi bwe bwalinga enjuba,+ era amagulu ge* gaalinga empagi z’omuliro. 2 Yalina mu mukono gwe omuzingo omutono oguzinguluddwa. N’ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja ate ekya kkono n’akiteeka ku nsi, 3 n’ayogera n’eddoboozi eddene ng’empologoma ewuluguma.+ Bwe yayogera n’eddoboozi eddene, ebibwatuka omusanvu+ ne byogera n’amaloboozi gaabyo.

4 Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera, nnali ŋŋenda kuwandiika naye ne mpulira eddoboozi okuva mu ggulu+ nga ligamba nti: “Teeka akabonero ku bintu ebibwatuka omusanvu bye byogedde era tobiwandiika.” 5 Malayika gwe nnalaba ng’ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi n’ayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri ggulu, 6 n’alayira mu linnya ly’Oyo abeerawo emirembe n’emirembe,+ eyatonda eggulu n’ebintu ebiririmu n’ensi n’ebintu ebigiriko n’ennyanja n’ebintu ebigirimu,+ n’agamba nti: “Tewajja kubaawo kulwa nate. 7 Naye mu kiseera nga malayika ow’omusanvu+ anaatera okufuuwa ekkondeere lye,+ ekyama ekitukuvu+ Katonda kye yabuulira abaddu be bannabbi+ ng’amawulire amalungi kijja kukomekkerezebwa.”

8 Era ne mpulira eddoboozi okuva mu ggulu+ nga lyogera nange nate, ne liŋŋamba nti: “Genda okwate omuzingo oguzinguluddwa oguli mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi.”+ 9 Ne ŋŋenda eri malayika ne mmugamba ampe omuzingo omutono. N’aŋŋamba nti: “Gukwate ogulye,+ era gujja kukaaya olubuto lwo naye mu kamwa ko gujja kuwoomerera ng’omubisi gw’enjuki.” 10 Ne nzigya omuzingo omutono mu mukono gwa malayika ne ngulya,+ ne guwoomerera ng’omubisi gw’enjuki+ mu kamwa kange; naye bwe nnamala okugulya ne gukaaya olubuto lwange. 11 Ne baŋŋamba nti: “Oteekwa okwogera nate obunnabbi obukwata ku bantu, ku mawanga, ku nnimi, ne ku bakabaka bangi.”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share