LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Samwiri 13
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Amunoni akwata Tamali (1-22)

      • Abusaalomu atta Amunoni (23-33)

      • Abusaalomu addukira e Gesuli (34-39)

2 Samwiri 13:1

Marginal References

  • +1By 3:9
  • +2Sa 3:2

2 Samwiri 13:3

Marginal References

  • +2Sa 13:35
  • +1Sa 16:9; 1By 2:13

2 Samwiri 13:4

Marginal References

  • +Lev 18:9; 20:17

2 Samwiri 13:5

Footnotes

  • *

    Oba, “emmere ey’okubudaabuda.”

2 Samwiri 13:6

Footnotes

  • *

    Obut., “obugaati obwakula ng’omutima.”

2 Samwiri 13:7

Footnotes

  • *

    Oba, “emmere ey’okubudaabuda.”

2 Samwiri 13:10

Footnotes

  • *

    Oba, “emmere ey’okubudaabuda.”

2 Samwiri 13:12

Marginal References

  • +Lev 18:9, 29; 20:17; Ma 27:22
  • +Lub 34:2, 7; Bal 20:5, 6

2 Samwiri 13:18

Footnotes

  • *

    Oba, “ekitonaatoneddwa.”

2 Samwiri 13:19

Marginal References

  • +Yos 7:6; Es 4:1; Yer 6:26

2 Samwiri 13:20

Marginal References

  • +2Sa 3:3; 13:1
  • +Lev 18:9; Ma 27:22

2 Samwiri 13:21

Marginal References

  • +Nge 19:13

2 Samwiri 13:22

Marginal References

  • +Nge 18:19
  • +Lub 34:7

2 Samwiri 13:23

Marginal References

  • +Yok 11:54
  • +1Sk 1:9, 19

2 Samwiri 13:26

Marginal References

  • +Zb 55:21; Nge 10:18; 26:24-26

2 Samwiri 13:32

Marginal References

  • +2Sa 13:3
  • +1Sa 16:9; 1By 2:13
  • +2Sa 12:10
  • +Lub 27:41; Zb 7:14; Nge 18:19
  • +Lev 18:9, 29; 2Sa 13:12-14

2 Samwiri 13:33

Footnotes

  • *

    Obut., “kussa ku mutima gwe.”

2 Samwiri 13:34

Marginal References

  • +2Sa 13:38

2 Samwiri 13:35

Marginal References

  • +2Sa 13:3

2 Samwiri 13:37

Marginal References

  • +2Sa 3:3

2 Samwiri 13:38

Marginal References

  • +Ma 3:14; Yos 12:4, 5; 2Sa 14:23

General

2 Sam. 13:11By 3:9
2 Sam. 13:12Sa 3:2
2 Sam. 13:32Sa 13:35
2 Sam. 13:31Sa 16:9; 1By 2:13
2 Sam. 13:4Lev 18:9; 20:17
2 Sam. 13:12Lev 18:9, 29; 20:17; Ma 27:22
2 Sam. 13:12Lub 34:2, 7; Bal 20:5, 6
2 Sam. 13:19Yos 7:6; Es 4:1; Yer 6:26
2 Sam. 13:202Sa 3:3; 13:1
2 Sam. 13:20Lev 18:9; Ma 27:22
2 Sam. 13:21Nge 19:13
2 Sam. 13:22Nge 18:19
2 Sam. 13:22Lub 34:7
2 Sam. 13:23Yok 11:54
2 Sam. 13:231Sk 1:9, 19
2 Sam. 13:26Zb 55:21; Nge 10:18; 26:24-26
2 Sam. 13:322Sa 13:3
2 Sam. 13:321Sa 16:9; 1By 2:13
2 Sam. 13:322Sa 12:10
2 Sam. 13:32Lub 27:41; Zb 7:14; Nge 18:19
2 Sam. 13:32Lev 18:9, 29; 2Sa 13:12-14
2 Sam. 13:342Sa 13:38
2 Sam. 13:352Sa 13:3
2 Sam. 13:372Sa 3:3
2 Sam. 13:38Ma 3:14; Yos 12:4, 5; 2Sa 14:23
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
  • 38
  • 39
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Samwiri 13:1-39

2 Samwiri

13 Abusaalomu mutabani wa Dawudi yalina mwannyina eyali ayitibwa Tamali+ eyali alabika obulungi ennyo, era Amunoni+ mutabani wa Dawudi yamwegomba. 2 Amunoni yennyamira nnyo n’atuuka n’okulwala olwa mwannyina Tamali, olw’okuba yali mbeerera era nga kyali kizibu eri Amunoni okumukola ekintu kyonna. 3 Amunoni yalina mukwano gwe ayitibwa Yekonadaabu,+ mutabani wa Simeya,+ muganda wa Dawudi, era Yekonadaabu yali musajja mugezigezi nnyo. 4 Yekonadaabu n’abuuza Amunoni nti: “Lwaki ggwe mutabani wa kabaka oba mwennyamivu buli ku makya? Mbuulira.” Amunoni n’amuddamu nti: “Nneegomba Tamali mwannyina+ Abusaalomu, muganda wange.” 5 Yekonadaabu n’amugamba nti: “Galamira ku kitanda kyo weefuule ng’omulwadde. Kitaawo bw’anajja okukulaba, ojja kumugamba nti, ‘Nkusaba ogambe mwannyinaze Tamali ajje andabe era ateekereteekere we ndi emmere eweebwa abalwadde,* agimpe ngirye.’”

6 Amunoni n’agalamira ne yeefuula ng’omulwadde, kabaka n’agenda okumulaba. Amunoni n’agamba kabaka nti: “Nkusaba ogambe mwannyinaze Tamali ajje afumbire we ndi obugaati* bubiri obuweebwa abalwadde, abumpe mbulye.” 7 Awo Dawudi n’atuma omubaka eri Tamali mu nnyumba, amugambe nti: “Genda ewa mwannyoko Amunoni omuteekereteekere emmere.”* 8 Tamali n’agenda mu nnyumba ya mwannyina Amunoni n’amusanga ng’agalamidde. N’addira obuwunga, n’abukanda, n’abukolamu obugaati nga Amunoni alaba, n’abufumba. 9 Oluvannyuma yatwala ekikalango n’amuwa obugaati, naye Amunoni n’agaana okulya era n’agamba nti: “Mugambe abantu bonna bave we ndi bagende!” Awo abantu bonna ne bavaawo.

10 Awo Amunoni n’agamba Tamali nti: “Leeta emmere* mu kisenge, ogimpe ngirye.” Tamali n’akwata obugaati bwe yali afumbye n’abutwalira mwannyina Amunoni mu kisenge. 11 Tamali bwe yabumutwalira alye, Amunoni n’amuvumbagira n’amugamba nti: “Mwannyinaze jjangu weebake nange.” 12 Naye Tamali n’amuddamu nti: “Nedda mwannyinaze! Tompeebuula, kubanga ekintu nga kino tekikolebwa mu Isirayiri.+ Tokola kintu kino eky’obuswavu.+ 13 Obuswavu obwo nnaabweggyako ntya? Naawe ojja kuba ng’omu ku basajja abasirusiru mu Isirayiri. Nkwegayiridde, yogera ne kabaka, kubanga tajja kugaana kumpaayo gy’oli.” 14 Naye Amunoni teyawuliriza Tamali, era yamusinza amaanyi n’amukwata lwa mpaka ne yeebaka naye. 15 Amunoni n’akyawa nnyo Tamali, era okukyawa kwe yamukyawa ne kuba kwa maanyi nnyo n’okusinga okwegomba kwe yamwegomba. Amunoni n’amugamba nti: “Situka; va wano!” 16 Naye Tamali n’amuddamu nti: “Nedda mwannyinaze; eky’okungobaganya kibi nnyo n’okusinga kino ky’onkoze!” Naye Amunoni teyamuwuliriza.

17 Awo n’ayita omuweereza we n’amugamba nti: “Omuntu ono muggye mu maaso gange omufulumye ebweru osibewo oluggi.” 18 (Tamali yali ayambadde ekyambalo ekirabika obulungi,* kubanga bwe batyo bawala ba kabaka embeerera bwe baayambalanga.) Awo omuweereza wa Amunoni n’afulumya Tamali ebweru n’asibawo oluggi. 19 Tamali ne yeeyiwa evvu mu mutwe,+ n’ayuza ekyambalo ekirabika obulungi kye yali ayambadde, n’ateeka emikono gye ku mutwe, n’agenda ng’akaaba.

20 Awo Abusaalomu+ mwannyina n’amubuuza nti: “Mwannyoko Amunoni y’akukoze kino? Kale mwannyinaze tobaako gw’okigamba. Oyo mwannyoko.+ Tokissaako nnyo mwoyo.” Tamali n’abeera eyo mu nnyumba ya Abusaalomu mwannyina nga yeeyawudde ku bantu. 21 Kabaka Dawudi bwe yawulira ebintu ebyo byonna, n’asunguwala nnyo.+ Naye teyayagala kunyiiza mutabani we Amunoni olw’okuba yali amwagala nnyo, okuva bwe kiri nti ye yali omwana we omubereberye. 22 Abusaalomu teyayogera na Amunoni kigambo kyonna ka kibe kirungi oba kibi; Abusaalomu yali akyaye+ Amunoni olw’okukwata Tamali mwannyina.+

23 Oluvannyuma lw’emyaka ebiri, abaasalanga ebyoya by’endiga za Abusaalomu baali Bbaali-kazoli, ekiri okumpi ne Efulayimu,+ era Abusaalomu yayita abaana ba kabaka bonna.+ 24 Awo Abusaalomu n’agenda eri kabaka n’amugamba nti: “Endiga z’omuweereza wo zisalibwako ebyoya. Nsaba kabaka n’abaweereza be bagende nange.” 25 Naye kabaka n’agamba Abusaalomu nti: “Nedda mwana wange. Ffenna bwe tunaagenda tujja kukufuukira mugugu.” Wadde Abusaalomu yamwegayirira nnyo, yagaana okugenda, naye n’amuwa omukisa. 26 Awo Abusaalomu n’agamba nti: “Bw’oba togenda nange, kale nno nkwegayiridde muganda wange Amunoni k’agende naffe.”+ Kabaka n’amubuuza nti: “Nga lwaki agenda naawe?” 27 Naye Abusaalomu n’amwegayirira nnyo, bw’atyo kabaka n’akkiriza Amunoni n’abaana ba kabaka abalala bonna okugenda naye.

28 Awo Abusaalomu n’alagira abaweereza be nti: “Mwetegereze bulungi; Amunoni omwenge bwe gunaaba gumukutte nga mucamufu, nja kubagamba nti, ‘Mutte Amunoni.’ Olwo nga mumutta! Temutya. Si nze mbalagidde? Mube ba maanyi era bavumu.” 29 Abaweereza ba Abusaalomu ne bakola Amunoni nga Abusaalomu bwe yali abalagidde. Awo abaana bakabaka abalala bonna ne bayimuka buli omu ne yeebagala ennyumbu ye n’adduka. 30 Bwe baali bakyali mu kkubo nga bagenda, Dawudi n’ategeezebwa nti: “Abusaalomu asse abaana ba kabaka bonna, era tewali n’omu awonyeewo.” 31 Kabaka n’ayimuka n’ayuza ebyambalo bye n’agalamira wansi, era abaweereza be bonna baali bayimiridde w’ali nga bayuzizza ebyambalo byabwe.

32 Naye Yekonadaabu+ mutabani wa Simeya,+ muganda wa Dawudi, n’amugamba nti: “Mukama wange aleme kulowooza nti basse abaana ba kabaka bonna abato; Amunoni yekka y’afudde.+ Abusaalomu ye yalagidde kikolebwe, era yakitegeka+ okuva ku lunaku Amunoni lwe yakwata Tamali mwannyina.+ 33 Kale mukama wange kabaka aleme kussa birowoozo ku* bimugambiddwa nti, ‘Abaana ba kabaka bonna bafudde’; Amunoni yekka y’afudde.”

34 Naye Abusaalomu yali adduse.+ Awo omukuumi n’ayimusa amaaso n’alengera abantu bangi nga bajja mu luguudo olwamuli emabega, okumpi n’olusozi. 35 Yekonadaabu+ n’agamba kabaka nti: “Laba! Abaana ba kabaka bakomyewo. Ng’omuweereza wo bw’akugambye, bwe kityo ddala bwe kiri.” 36 Bwe yali yaakamala okwogera, abaana ba kabaka ne bayingira nga batema emiranga, era ne kabaka n’abaweereza be bonna ne bakaaba nnyo. 37 Abusaalomu n’adduka n’agenda ewa Talumaayi+ mutabani wa Ammikudi, kabaka wa Gesuli. Dawudi n’akungubagira mutabani we okumala ennaku nnyingi. 38 Abusaalomu bwe yaddukira e Gesuli,+ yabeera eyo okumala emyaka esatu.

39 Oluvannyuma Kabaka Dawudi yawulira ng’ayagala nnyo okugenda eri Abusaalomu, kubanga yali amaze okugumira okufa kwa Amunoni.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share