LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ezeekyeri 29
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Obunnabbi obukwata ku Falaawo (1-16)

      • Misiri ya kuweebwayo eri Babulooni ng’empeera (17-21)

Ezeekyeri 29:2

Marginal References

  • +Yer 25:17, 19; 43:10, 11; Ezk 31:2

Ezeekyeri 29:3

Marginal References

  • +Yer 46:25; Ezk 31:18
  • +Ezk 32:2
  • +Ezk 29:9

Ezeekyeri 29:4

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 80

Ezeekyeri 29:5

Marginal References

  • +Yer 25:33
  • +Ezk 32:4

Ezeekyeri 29:6

Marginal References

  • +Is 36:6; Yer 37:5-7; Ezk 17:17

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 78-80

Ezeekyeri 29:7

Marginal References

  • +Yer 17:5

Ezeekyeri 29:8

Marginal References

  • +Yer 46:14; Ezk 30:4; 32:12

Ezeekyeri 29:9

Footnotes

  • *

    Obut., “agambye.”

Marginal References

  • +Yer 43:11-13
  • +Ezk 29:3

Ezeekyeri 29:10

Marginal References

  • +Ezk 30:12
  • +Yer 44:1
  • +Ezk 30:6, 7

Ezeekyeri 29:11

Marginal References

  • +Ezk 31:12; 32:13

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2007, lup. 20

Ezeekyeri 29:12

Marginal References

  • +Yer 46:19
  • +Ezk 30:23

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2007, lup. 20

Ezeekyeri 29:13

Marginal References

  • +Yer 46:25, 26

Ezeekyeri 29:14

Marginal References

  • +Lub 10:13, 14; Ezk 30:14

Ezeekyeri 29:15

Marginal References

  • +Ezk 30:13
  • +Ezk 32:2

Ezeekyeri 29:16

Marginal References

  • +Is 30:2; 36:4, 6; Yer 2:18; 37:5-7

Ezeekyeri 29:18

Footnotes

  • *

    Obut., “Nebukadduleeza,” engeri endala erinnya eryo gye liwandiikibwamu.

Marginal References

  • +Yer 25:9; 27:3, 6
  • +Ezk 26:7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2007, lup. 20

Ezeekyeri 29:19

Footnotes

  • *

    Obut., “Nebukadduleeza,” engeri endala erinnya eryo gye liwandiikibwamu.

Marginal References

  • +Yer 43:10, 12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2007, lup. 21

Ezeekyeri 29:20

Marginal References

  • +Ezk 30:9, 10

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2007, lup. 21

Ezeekyeri 29:21

Footnotes

  • *

    Oba, “nja kuwa ab’ennyumba ya Isirayiri amaanyi.”

Marginal References

  • +1Sa 2:10; Luk 1:69

General

Ezk. 29:2Yer 25:17, 19; 43:10, 11; Ezk 31:2
Ezk. 29:3Yer 46:25; Ezk 31:18
Ezk. 29:3Ezk 32:2
Ezk. 29:3Ezk 29:9
Ezk. 29:5Yer 25:33
Ezk. 29:5Ezk 32:4
Ezk. 29:6Is 36:6; Yer 37:5-7; Ezk 17:17
Ezk. 29:7Yer 17:5
Ezk. 29:8Yer 46:14; Ezk 30:4; 32:12
Ezk. 29:9Yer 43:11-13
Ezk. 29:9Ezk 29:3
Ezk. 29:10Ezk 30:12
Ezk. 29:10Yer 44:1
Ezk. 29:10Ezk 30:6, 7
Ezk. 29:11Ezk 31:12; 32:13
Ezk. 29:12Yer 46:19
Ezk. 29:12Ezk 30:23
Ezk. 29:13Yer 46:25, 26
Ezk. 29:14Lub 10:13, 14; Ezk 30:14
Ezk. 29:15Ezk 30:13
Ezk. 29:15Ezk 32:2
Ezk. 29:16Is 30:2; 36:4, 6; Yer 2:18; 37:5-7
Ezk. 29:18Yer 25:9; 27:3, 6
Ezk. 29:18Ezk 26:7
Ezk. 29:19Yer 43:10, 12
Ezk. 29:20Ezk 30:9, 10
Ezk. 29:211Sa 2:10; Luk 1:69
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ezeekyeri 29:1-21

Ezeekyeri

29 Ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri olw’omwezi ogw’ekkumi, mu mwaka ogw’ekkumi, Yakuwa yayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu, amaaso go goolekeze Falaawo kabaka wa Misiri olangirire ebinaamutuukako, n’ebinaatuuka ku Misiri yonna.+ 3 Yogera ebigambo bino: ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:

“Kaakano ndi mulabe wo, ggwe Falaawo kabaka wa Misiri,+

Ogusolo ogunene ogw’omu nnyanja ogugalamidde mu myala egiva ku mugga gwagwo Kiyira,+

Agambye nti, ‘Omugga Kiyira gwange.

Nze nnagwekolera.’+

 4 Naye nja kuteeka amalobo mu mba zo, ndeetere ebyennyanja by’omu mugga gwo Kiyira okukwatira ku magalagamba go.

Nja kukuggya mu Mugga gwo Kiyira awamu n’ebyennyanja byonna eby’omu Mugga Kiyira ebikwatidde ku magalagamba go.

 5 Nja kukuleka mu ddungu ggwe n’ebyennyanja byonna eby’omu mugga gwo Kiyira.

Ojja kugwa ku ttale, era tewali ajja kukuggyawo wadde okukuziika.+

Nja kukuwaayo oliibwe ensolo ez’omu nsiko n’ebinyonyi eby’omu bbanga.+

 6 Awo abantu bonna mu Misiri bajja kumanya nti nze Yakuwa,

Kubanga baali ng’olumuli ab’ennyumba ya Isirayiri bwe baabeesigamako.+

 7 Bwe baakukwata omukono, wamenyekamenyeka,

N’oleetera ebibegaabega byabwe okuwogoka.

Bwe baakwesigamako, wamenyeka,

N’oleetera amagulu gaabwe okukankana.”+

8 “‘Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Ŋŋenda kukuleetako ekitala,+ era nja kukumalamu abantu n’ensolo. 9 Ensi ya Misiri ejja kufuuka matongo;+ era bajja kumanya nti nze Yakuwa, kubanga ogambye* nti, ‘Omugga Kiyira gwange; nze nnagukola.’+ 10 Kale ndi mulabe wo ggwe n’omugga gwo Kiyira, era ensi ya Misiri nja kugifuula nkalu era matongo,+ okuva e Migudooli+ okutuuka e Seyene+ ne ku nsalo ya Esiyopiya. 11 Tejja kuyitamu muntu wadde ensolo,+ era tejja kubeeramu bantu okumala emyaka 40. 12 Ensi ya Misiri nja kugifuula matongo okusinga ensi endala ezaali zifuuse amatongo, era okumala emyaka 40+ ebibuga byayo bijja kuba matongo okusinga ebibuga ebirala ebyali bifuuse amatongo; Abamisiri nja kubasaasaanya mu mawanga ne mu nsi ez’enjawulo.”+

13 “‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Oluvannyuma lw’emyaka 40, nja kukuŋŋaanya Abamisiri mbaggye mu mawanga gye baasaasaanyizibwa;+ 14 Abamisiri abaawambibwa nja kubakomyawo mu nsi ya Pasuloosi,+ ensi mwe basibuka, era bajja kufuuka obwakabaka obutali bwa maanyi. 15 Obwakabaka bwa Misiri bujja kuba bwa wansi okusinga obwakabaka obulala bwonna era tebujja kuddamu kufuga mawanga malala;+ Abamisiri nja kubafuula batono nnyo baleme kuddamu kuba na buyinza ku mawanga malala.+ 16 Ab’ennyumba ya Isirayiri tebajja kuddamu kussa bwesige mu Misiri,+ era kijja kubajjukiza nti baakola nsobi okusaba Abamisiri babayambe. Bajja kumanya nti nze Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”’”

17 Ku lunaku olusooka olw’omwezi ogusooka, mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu, Yakuwa era yayogera nange n’aŋŋamba nti: 18 “Omwana w’omuntu, Kabaka Nebukadduneeza*+ owa Babulooni yakozesa nnyo eggye lye okulwanyisa Ttuulo.+ Buli mutwe gwakutuka ekiwalaata era buli kibegaabega kyayubukako olususu. Kyokka ye n’ab’eggye lye tebaafuna mpeera olw’amaanyi ge baamalira ku Ttuulo.

19 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Nebukadduneeza* kabaka wa Babulooni+ ŋŋenda kumuwa ensi ya Misiri, era ajja kutwala eby’obugagga byayo era agiggyemu omunyago mungi; ebyo bye bijja okuba empeera y’eggye lye.’

20 “‘Nja kumuwa ensi ya Misiri ng’empeera kubanga yalwanyisa Ttuulo ku lwange,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.

21 “Ku lunaku olwo ab’ennyumba ya Isirayiri nja kubamereza ejjembe,*+ era nja kukuwa akakisa oyogerere mu bo; era bajja kumanya nti nze Yakuwa.”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share