LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Oluyimba lwa Sulemaani 3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

    • OMUWALA OMUSULAMU MU LUSIISIRA LWA KABAKA SULEMAANI (1:1–3:5)

        • 3 Omuwala (1-5)

          • ‘Ekiro nnanoonya oyo gwe njagala’ (1)

      OMUWALA OMUSULAMU MU YERUSAALEMI (3:6–8:4)

        • Abawala ba Sayuuni (6-11)

          • Sulemaani n’abaamuwerekerako

Oluyimba lwa Sulemaani 3:1

Marginal References

  • +Luy 1:7
  • +Luy 5:6

Oluyimba lwa Sulemaani 3:3

Marginal References

  • +Luy 5:7

Oluyimba lwa Sulemaani 3:4

Marginal References

  • +Luy 8:2

Oluyimba lwa Sulemaani 3:5

Marginal References

  • +Luy 2:7; 8:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/15/2015, lup. 31

    2/1/2007, lup. 16-17

Oluyimba lwa Sulemaani 3:6

Marginal References

  • +Kuv 30:23, 24, 34

Oluyimba lwa Sulemaani 3:7

Marginal References

  • +1Sk 9:22

Oluyimba lwa Sulemaani 3:9

Footnotes

  • *

    Entebe oba ekitanda okuli ekibikka waggulu kwe baasituliranga omuntu ow’ekitiibwa.

Marginal References

  • +1Sk 5:8, 9

Oluyimba lwa Sulemaani 3:11

Footnotes

  • *

    Oba, “engule.”

Marginal References

  • +2Sa 12:24; Nge 4:3

General

Lu. 3:1Luy 1:7
Lu. 3:1Luy 5:6
Lu. 3:3Luy 5:7
Lu. 3:4Luy 8:2
Lu. 3:5Luy 2:7; 8:4
Lu. 3:6Kuv 30:23, 24, 34
Lu. 3:71Sk 9:22
Lu. 3:91Sk 5:8, 9
Lu. 3:112Sa 12:24; Nge 4:3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Oluyimba lwa Sulemaani 3:1-11

Oluyimba lwa Sulemaani

3 “Bwe nnali ku kitanda kyange ekiro,

Nnanoonya oyo gwe njagala.+

Nnamunoonya, naye saamuzuula.+

 2 Kyennava ŋŋamba nti, ‘Ka nnyimuke ntambuletambule mu kibuga;

Ka nnoonye oyo gwe njagala,

Mu nguudo ne mu bifo ebya lukale.

Nnamunoonya, naye saamuzuula.

 3 Abakuumi abaali balawuna mu kibuga bansanga,+

Ne mbabuuza nti, ‘Mundabiddeko ku oyo gwe njagala?’

 4 Nnali nnaakabayitako bwe nti,

Ne nsanga oyo gwe njagala.

Ne mmukwata, era saamuta,

Okutuusa lwe nnamuleeta mu nnyumba ya mmange,+

Mu bisenge by’oyo eyanzaala.

 5 Mmwe abawala ba Yerusaalemi,

Mbalayiza enjaza n’empeewo ez’oku ttale:

Temugolokosanga kwagala kwange newakubadde okukuzuukusa okutuusa we kulyagalira.”+

 6 “Kiki ekyo ekiringa empagi z’omukka ekyambuka nga kiva mu ddungu,

Ekiwunya akawoowo ka miira n’ak’obubaani obweru,

N’eby’akaloosa byonna eby’abasuubuzi?”+

 7 “Laba! Ye ntebe ya Sulemaani.

Yeetooloddwa abasajja ab’amaanyi nkaaga,

Nga be bamu ku basajja ab’amaanyi ab’omu Isirayiri,+

 8 Bonna balina ebitala,

Bonna batendekeddwa okulwana,

Buli omu asibye ekitala kye mu kiwato

Okwerinda eby’entiisa eby’ekiro.”

 9 “Ye ntebe* ya Kabaka Sulemaani

Gye yeekolera mu miti gy’e Lebanooni.+

10 Empagi zaayo yazikola mu ffeeza,

Ekyesigamwako kya zzaabu,

Ekituulibwako kya wuzi eza kakobe;

Era ng’Abawala ba Yerusaalemi

Baagitonaatona bulungi munda.”

11 “Mmwe abawala ba Sayuuni mufulume,

Mulabe Kabaka Sulemaani

Ng’ayambadde omuge* nnyina+ gwe yamukolera

Ku lunaku lw’embaga ye,

Ku lunaku omutima gwe lwe gwasanyuka.”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share