Oluyimba lwa Sulemaani
4 “Ng’olabika bulungi, omwagalwa wange!
Ng’olabika bulungi!
Amaaso go galinga ag’ejjiba mu katimba ke weebikkiridde.
Enviiri zo ziringa ekisibo ky’embuzi
Ezikkirira ensozi za Gireyaadi.+
2 Amannyo go galinga ekisibo ky’endiga ezaakasalibwako ebyoya,
Ezaakamala okunaazibwa,
Nga zonna zaazaala balongo,
Era nga tewali n’emu ebuliddwako mwana gwayo.
3 Emimwa gyo giringa akawuzi akamyufu,
Era by’oyogera bisanyusa.
Amatama go* galinga enkomamawanga esaliddwamu ebitundu bibiri
Mu katimba ke weebikkiridde.
4 Ensingo yo+ eringa omunaala gwa Dawudi,+
Ogwazimbibwa n’amayinja agaateekebwa mu nnyiriri,
Oguwanikiddwako engabo lukumi,
Engabo zonna enneetooloovu ez’abasajja ab’amaanyi.+
6 “Ng’empewo y’emisana tennatandika kukunta, era nga n’ebisiikirize tebinnaggwaawo,
Nja kugenda ku lusozi lwa miira
Ne ku kasozi k’obubaani obweru.”+
8 Jjangu tuve ku Lebanooni mugole wange,
Jjangu tuve ku Lebanooni.+
Va ku ntikko y’Olusozi Amaani* okkirire
Va ku ntikko y’Olusozi Seniri, entikko y’Olusozi Kerumooni,+
Va empologoma we zisula, va ku lusozi lw’engo.
9 Mwannyinaze, mugole wange, otutte omutima gwange,+
Omukuufu gwo n’eriiso ly’ontunuulizza,
Bitutte omutima gwange.
10 Mwannyinaze, mugole wange, omukwano gw’olaga+ nga musuffu!
Omukwano gw’olaga gusingira wala omwenge,+
N’akawoowo ko kawunya bulungi okusinga eby’akaloosa ebirala byonna!+
11 Mugole wange, emimwa gyo gitonnya omubisi ogw’omu bisenge by’omubisi gw’enjuki.+
Omubisi gw’enjuki n’amata biri wansi w’olulimi lwo,+
N’akawoowo akava mu ngoye zo kalinga akawoowo k’e Lebanooni.
12 Mwannyinaze, era omugole wange, alinga ennimiro okuli olukomera,
Alinga ennimiro okuli olukomera, alinga ensulo enzibikire.
13 Amatabi go* nnimiro ya nkomamawanga,
Omuli ebibala ebirungi ennyo, ebimera bya koferi n’ebimera bya nerada,
14 Ebimera ebiwunya akaloosa,+
N’emiti gy’obubaani obweru egya buli ngeri, miira ne alowe,+
N’eby’akaloosa byonna ebisingirayo ddala obulungi.+
15 Oli nsulo ey’omu nnimiro, oli luzzi olw’amazzi amalungi,
Era oli migga egikulukuta okuva e Lebanooni.+
16 Ggwe empewo ey’ebukiikakkono, zuukuka;
Ggwe empewo ey’ebukiikaddyo, yingira.
Mukuntire* ku nnimiro yange.
Akawoowo kaamu ka kasaasaane.”
“Omwagalwa wange k’ajje mu nnimiro ye
Alye ebibala byamu ebisinga obulungi.”