Oluyimba lwa Sulemaani
5 “Mwannyinaze, mugole wange,
Nzize mu nnimiro yange.+
Nnonze miira wange n’eby’akaloosa byange.+
Ndidde omubisi gwange ogw’enjuki n’ebisenge byagwo;
Nnywedde omwenge gwange n’amata gange.”+
“Ab’emikwano, mulye!
Munywe mutamiire omukwano!”+
2 “Nneebase, naye omutima gwange gutunula.+
Mpulira omwagalwa wange ng’akonkona!
‘Nziguliraawo mwannyinaze gwe njagala ennyo,
Ejjiba lyange, ataliiko kamogo!
Anti omutwe gwange gutobye omusulo,
Enviiri zange zijjudde ssuulwe.’+
3 “‘Nneeyambudde ekyambalo kyange.
Nziremu ate nkyambale?
Nnaabye ebigere.
Nziremu ate mbiddugaze?’
4 Omwagalwa wange yaggya omukono gwe mu kituli ky’oluggi,
Omutima gwange ne gubuguumirira.
5 Nnasituka okuggulirawo omwagalwa wange;
Emikono gyange gyali gitonnya miira,
N’engalo zange nga zitonnya amafuta ga miira,
Ne bikulukutira ku bisiba oluggi.
6 Nnaggulirawo omwagalwa wange,
Naye yali avuddewo, ng’agenze.
Nnanakuwala ng’agenze.
Nnamunoonya naye saamuzuula.+
Nnamukowoola naye teyanziramu.
7 Abakuumi abaali balawuna ekibuga bansanga.
Bankuba ne bantuusaako ebisago.
Abakuumi b’oku bbugwe banzigyako omunagiro* gwange.
8 Mmwe abawala ba Yerusaalemi mbalayiza,
Bwe musisinkana omwagalwa wange,
Mumugambe nti omukwano gundwazizza.”
9 “Ggwe asinga abakazi bonna okulabika obulungi
Kiki omwagalwa wo ky’asinza omwagalwa omulala yenna?
Kiki omwagalwa wo ky’asinza omwagalwa omulala yenna,
Olyoke otulayize bw’otyo?”
10 “Omwagalwa wange alabika bulungi nnyo era mumyufu;
Ne bw’aba mu bantu omutwalo aba wa njawulo nnyo.
11 Omutwe gwe gulinga zzaabu asingayo obulungi.
Enviiri ze ziringa ensansa ezeewuuba,*
Era nzirugavu nga nnamuŋŋoona.
12 Amaaso ge galinga amayiba agali ku mabbali g’emigga,
Aganaabira mu mata,
Agatudde okumpi n’ekidiba ekijjudde amazzi.
13 Amatama ge galinga ennimiro y’ebimera eby’akaloosa,+
Galinga entuumu y’omuddo oguwunya akaloosa.
Emimwa gye giringa amalanga agatonnya amafuta ga miira.+
14 Engalo ze za zzaabu era zirina enjala eziringa amayinja ga kirisoliti.
Olubuto lwe lulinga amasanga agamasamasa agateekeddwako amayinja ga safiro.
15 Amagulu ge galinga empagi z’amayinja agalabika obulungi ezisimbiddwa ku matoffaali aga zzaabu asingayo obulungi.
Alabika bulungi ng’ensi ya Lebanooni, muwanvu ng’emiti gy’entolokyo.+
Mmwe abawala ba Yerusaalemi, oyo ye mwagalwa wange, gwe njagala ennyo.”