Oluyimba lwa Sulemaani
6 “Omwagalwa wo alaze wa,
Ggwe asinga abakazi bonna obulungi?
Omwagalwa wo akutte kkubo ki?
Ka tumunoonyeze wamu naawe.”
2 “Omwagalwa wange aserengese mu nnimiro ye,
Mu nnimiro y’ebimera eby’akaloosa,
Okulundirayo ekisibo kye,
N’okunoga amalanga.+
3 Omwagalwa wange, wange,
Nange ndi wuwe.+
Alundira endiga mu malanga.”+
4 “Omwagalwa wange,+ olabika bulungi nga Tiruza,*+
Olabika bulungi nga Yerusaalemi,+
Owuniikiriza ng’amagye ageetoolodde bbendera zaago.+
Enviiri zo ziringa ekisibo ky’embuzi
Ezikkirira ku nsozi za Gireyaadi.+
6 Amannyo go galinga ekisibo ky’endiga
Ezaakamala okunaazibwa,
Nga zonna zaazaala balongo,
Era nga tewali n’emu ebuliddwako mwana gwayo.
7 Amatama go* galinga ebiwayi by’enkomamawanga
Mu katimba ke weebikkiridde.
8 Ne bwe wabaawo bannaabakyala 60
N’abazaana 80
Era n’abawala abatabalika,+
9 Ejjiba lyange,+ ataliiko kamogo, ali omu yekka.
Y’omu yekka owa nnyina.
Y’asinga okuba omuganzi* eri oyo eyamuzaala.
Abawala bamulaba ne bamwogerako ebirungi;
Bannaabakyala n’abazaana bamulaba ne bamutendereza.
10 ‘Ani oyo ayakaayakana* ng’emmambya esala,
Alabika obulungi ng’omwezi ogw’eggabogabo,
Omulongoofu ng’omusana,
Awuniikiriza ng’amagye ageetoolodde bbendera zaago?’”+
11 “Nnaserengeta mu nnimiro y’emiti egy’ebibala,+
Okulaba emitunsi ku miti egiri mu kiwonvu,*
Okulaba obanga emizabbibu gireese emitunsi,
Okulaba obanga emiti gy’enkomamawanga gimulisizza.
12 Olw’okwagala okulaba ebintu ebyo,
Nneesanga ntuuse awaali
Amagaali g’abantu bange ab’emitima emirungi.”
13 “Komawo, komawo, omuwala Omusulamu!
Komawo, komawo,
Tukutunuulire!”
“Lwaki mutunuulira omuwala Omusulamu?”+
“Alinga amazina ga Makanayimu!”*