Oluyimba lwa Sulemaani
3 “Bwe nnali ku kitanda kyange ekiro,
Nnanoonya oyo gwe njagala.+
Nnamunoonya, naye saamuzuula.+
2 Kyennava ŋŋamba nti, ‘Ka nnyimuke ntambuletambule mu kibuga;
Ka nnoonye oyo gwe njagala,
Mu nguudo ne mu bifo ebya lukale.
Nnamunoonya, naye saamuzuula.
3 Abakuumi abaali balawuna mu kibuga bansanga,+
Ne mbabuuza nti, ‘Mundabiddeko ku oyo gwe njagala?’
4 Nnali nnaakabayitako bwe nti,
Ne nsanga oyo gwe njagala.
5 Mmwe abawala ba Yerusaalemi,
Mbalayiza enjaza n’empeewo ez’oku ttale:
Temugolokosanga kwagala kwange newakubadde okukuzuukusa okutuusa we kulyagalira.”+
6 “Kiki ekyo ekiringa empagi z’omukka ekyambuka nga kiva mu ddungu,
Ekiwunya akawoowo ka miira n’ak’obubaani obweru,
N’eby’akaloosa byonna eby’abasuubuzi?”+
7 “Laba! Ye ntebe ya Sulemaani.
Yeetooloddwa abasajja ab’amaanyi nkaaga,
Nga be bamu ku basajja ab’amaanyi ab’omu Isirayiri,+
8 Bonna balina ebitala,
Bonna batendekeddwa okulwana,
Buli omu asibye ekitala kye mu kiwato
Okwerinda eby’entiisa eby’ekiro.”
10 Empagi zaayo yazikola mu ffeeza,
Ekyesigamwako kya zzaabu,
Ekituulibwako kya wuzi eza kakobe;
Era ng’Abawala ba Yerusaalemi
Baagitonaatona bulungi munda.”