Oluyimba lwa Sulemaani
2 “Ng’eddanga mu maggwa,
Gwe njagala bw’ali bw’atyo mu bawala.”
3 “Ng’omuti gwa apo bwe guba mu miti egy’omu kibira,
N’omwagalwa wange bw’ali bw’atyo mu bavubuka.
Njagala nnyo okutuula mu kisiikirize kye,
Era ekibala kye kimpoomera.
4 Yannyingiza mu nnyumba omuliirwa ebijjulo,*
Era bbendera ye eyali ku nze kwe kwagala.
Temugolokosanga kwagala kwange newakubadde okukuzuukusa okutuusa we kulyagalira.+
8 Mpulira eddoboozi ly’omwagalwa wange!
Laba! Wuuyo ajja,
Ng’alinnya ensozi, ng’obusozi abuyitako awenyuka.
9 Omwagalwa wange alinga enjaza, alinga empeewo ento.+
Wuuli ayimiridde emabega w’ennyumba yaffe,
Alingiza mu ddirisa,
Atunula mu ddirisa ery’akatimba.
11 Laba! Ekiseera ky’obutiti* kiyise,
Enkuba eweddeyo, egenze.
12 Ebimuli byanyizza mu nsi,+
Ekiseera ky’okusalira kituuse,+
Era oluyimba lw’ejjiba luwulirwa mu nsi yaffe.+
13 Ebibala by’omutiini ebisooka byengedde;+
Emizabbibu gimulisizza era giwunya akawoowo.
Omwagalwa wange, yimuka ojje.
Nnalulungi wange, jjangu tugende.
14 Ggwe ejjiba lyange, vaayo mu mpampagama z’olwazi,+
Vaayo eyo aweekusifu mu lwazi olugulumivu,
Nkulabe era mpulire eddoboozi lyo,+
Kubanga eddoboozi lyo ddungi era olabika bulungi.’”+
15 “Mutukwatire ebibe,
Ebibe ebito ebyonoona ennimiro zaffe ez’emizabbibu,
Kubanga emizabbibu gyaffe gimulisizza.”
16 “Omwagalwa wange, wange, nange ndi wuwe.+