LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Olubereberye 21
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Isaaka azaalibwa (1-7)

      • Isimayiri akudaalira Isaaka (8, 9)

      • Agali ne Isimayiri bagobebwa (10-21)

      • Endagaano ya Ibulayimu ne Abimereki (22-34)

Olubereberye 21:1

Marginal References

  • +Lub 18:10

Olubereberye 21:2

Marginal References

  • +Beb 11:11
  • +Lub 17:21; 18:10, 14; Bar 9:9

Olubereberye 21:3

Marginal References

  • +Lub 17:19; Yos 24:3; Bar 9:7

Olubereberye 21:4

Marginal References

  • +Lub 17:12; Lev 12:3; Bik 7:8

Olubereberye 21:6

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “anansekerera.”

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 5 2017 lup. 14-15

Olubereberye 21:9

Marginal References

  • +Lub 16:4, 15
  • +Lub 15:13; Bag 4:22, 29

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2001, lup. 18

Olubereberye 21:10

Marginal References

  • +Lub 15:2, 4; Bag 4:30

Olubereberye 21:11

Marginal References

  • +Lub 17:18

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 5 2017 lup. 15

Olubereberye 21:12

Footnotes

  • *

    Obut., “Wuliriza eddoboozi lye.”

Marginal References

  • +Lub 17:19; Bar 9:7; Beb 11:18

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/2006, lup. 6-7

Olubereberye 21:13

Marginal References

  • +Bag 4:22
  • +Lub 16:9, 10; 17:20; 25:12, 16

Olubereberye 21:14

Marginal References

  • +Lub 25:5, 6
  • +Lub 22:19

Olubereberye 21:17

Marginal References

  • +Lub 16:11
  • +Lub 16:7, 8

Olubereberye 21:18

Marginal References

  • +1By 1:29-31

Olubereberye 21:20

Marginal References

  • +Lub 16:16

Olubereberye 21:21

Marginal References

  • +Kbl 10:12

Olubereberye 21:22

Marginal References

  • +Lub 20:17, 18; 26:26, 28

Olubereberye 21:23

Marginal References

  • +Lub 20:14, 15

Olubereberye 21:25

Marginal References

  • +Lub 26:15, 20

Olubereberye 21:31

Footnotes

  • *

    Oboolyawo litegeeza, “Oluzzi olw’Ekirayiro oba Oluzzi lw’Omusanvu.”

Marginal References

  • +Lub 26:32, 33

Olubereberye 21:32

Marginal References

  • +Lub 26:26, 28
  • +Lub 10:13, 14; 26:1

Olubereberye 21:33

Marginal References

  • +Lub 12:8, 9; 26:25
  • +Zb 90:2; Is 40:28; 1Ti 1:17

Olubereberye 21:34

Footnotes

  • *

    Oba, “n’abeera ng’omugwira.”

  • *

    Obut., “ennaku nnyingi.”

Marginal References

  • +Beb 11:8, 9

General

Lub. 21:1Lub 18:10
Lub. 21:2Beb 11:11
Lub. 21:2Lub 17:21; 18:10, 14; Bar 9:9
Lub. 21:3Lub 17:19; Yos 24:3; Bar 9:7
Lub. 21:4Lub 17:12; Lev 12:3; Bik 7:8
Lub. 21:9Lub 16:4, 15
Lub. 21:9Lub 15:13; Bag 4:22, 29
Lub. 21:10Lub 15:2, 4; Bag 4:30
Lub. 21:11Lub 17:18
Lub. 21:12Lub 17:19; Bar 9:7; Beb 11:18
Lub. 21:13Bag 4:22
Lub. 21:13Lub 16:9, 10; 17:20; 25:12, 16
Lub. 21:14Lub 25:5, 6
Lub. 21:14Lub 22:19
Lub. 21:17Lub 16:11
Lub. 21:17Lub 16:7, 8
Lub. 21:181By 1:29-31
Lub. 21:20Lub 16:16
Lub. 21:21Kbl 10:12
Lub. 21:22Lub 20:17, 18; 26:26, 28
Lub. 21:23Lub 20:14, 15
Lub. 21:25Lub 26:15, 20
Lub. 21:31Lub 26:32, 33
Lub. 21:32Lub 26:26, 28
Lub. 21:32Lub 10:13, 14; 26:1
Lub. 21:33Lub 12:8, 9; 26:25
Lub. 21:33Zb 90:2; Is 40:28; 1Ti 1:17
Lub. 21:34Beb 11:8, 9
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Olubereberye 21:1-34

Olubereberye

21 Yakuwa n’ajjukira Saala nga bwe yali agambye, era Yakuwa n’akolera Saala kye yali asuubizza.+ 2 Saala n’aba olubuto,+ n’azaalira Ibulayimu omwana ow’obulenzi nga Ibulayimu akaddiye, mu kiseera ekigereke Katonda kye yali amusuubizza.+ 3 Ibulayimu n’atuuma omwana we omuwere Saala gwe yali amuzaalidde, erinnya Isaaka.+ 4 Ibulayimu yakomola Isaaka mutabani we nga wa nnaku munaana, nga Katonda bwe yali amulagidde.+ 5 Isaaka mutabani wa Ibulayimu yazaalibwa nga Ibulayimu aweza emyaka 100. 6 Saala n’agamba nti: “Katonda andeetedde enseko; buli anaakiwulira anaasekera wamu nange.”* 7 Era n’agattako nti: “Ani eyali asobola okugamba Ibulayimu nti, ‘Saala aliyonsa abaana’? Naye kati mmuzaalidde omwana ow’obulenzi mu myaka gye egy’obukadde.”

8 Omwana ne yeeyongera okukula n’atuuka okuggibwa ku mabeere; Ibulayimu n’afumba ekijjulo ekinene ku lunaku Isaaka lwe yaggibwa ku mabeere. 9 Saala n’alaba omwana wa Agali+ Omumisiri gwe yazaalira Ibulayimu ng’akudaalira Isaaka.+ 10 Bw’atyo n’agamba Ibulayimu nti: “Goba omuzaana ono ne mutabani we, kubanga omwana w’omuzaana tagenda kuba musika wamu n’omwana wange Isaaka!”+ 11 Naye kye yayogera ku mutabani wa Ibulayimu kyanakuwaza nnyo Ibulayimu.+ 12 Katonda n’agamba Ibulayimu nti: “Tonakuwala olw’ekyo Saala ky’akugambye ku mulenzi ne ku muzaana wo. Muwulirize* kubanga eririyitibwa ezzadde lyo liriyitira mu Isaaka.+ 13 Ne mutabani w’omuzaana wo+ naye ndimufuula eggwanga,+ kubanga mwana wo.”

14 Ibulayimu n’agolokoka ku makya n’addira emmere n’ensawo ey’eddiba ey’amazzi n’abiwa Agali. N’abimuteeka ku kibegaabega n’amugamba agende awamu n’omulenzi.+ Bw’atyo Agali n’agenda ng’abundabunda mu ddungu ly’e Beeru-seba.+ 15 Oluvannyuma amazzi ne gaggwaamu mu nsawo ey’eddiba, n’ateeka omulenzi mu kimu ku bisaka. 16 Bwe yamala n’agenda n’atuula yekka, nga yesudde ebbanga ng’akasaale we kagwa nga kalasiddwa, kubanga yagamba nti: “Saagala kulaba mulenzi ng’afa.” Bw’atyo n’atuula walako, n’atandika okutema emiranga.

17 Katonda n’awulira eddoboozi ly’omulenzi+ era malayika wa Katonda n’ayita Agali ng’ayima mu ggulu n’amugamba+ nti: “Obadde ki Agali? Totya kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly’omulenzi awo w’ali. 18 Situka oyimuse omulenzi omuwanirire n’omukono gwo, kubanga ndimufuula eggwanga eddene.”+ 19 Katonda n’azibula amaaso ga Agali n’alaba oluzzi; n’agenda n’ajjuza ensawo ey’eddiba amazzi n’awa omulenzi n’anywa. 20 Katonda n’aba wamu n’omulenzi+ ng’agenda akula. Omulenzi n’abeeranga mu ddungu era n’afuuka omulasi w’obusaale. 21 Yabeeranga mu ddungu ly’e Palani,+ era maama we yamuwasiza omukazi okuva mu nsi ya Misiri.

22 Awo mu biro ebyo, Abimereki ng’ali wamu ne Fikoli omukulu w’eggye lye, n’agamba Ibulayimu nti: “Katonda ali naawe mu buli kimu ky’okola.+ 23 Kale ndayirira wano mu maaso ga Katonda nti tonkuusekuusenga nze n’abaana bange ne bazzukulu bange; era nti nga bwe nkulaze okwagala okutajjulukuka naawe bw’otyo bw’onookundaga nze n’ensi gy’olimu.”+ 24 Ibulayimu n’agamba nti: “Ndayira.”

25 Kyokka Ibulayimu ne yeemulugunyiza Abimereki olw’oluzzi abaweereza ba Abimereki lwe baamuggyako n’eryanyi,+ 26 Abimereki n’amugamba nti: “Simanyi yakola kintu ekyo; tewakimbuulirako, era leero lwe nsoose okukiwulira.” 27 Awo Ibulayimu n’atoola endiga n’ente n’aziwa Abimereki era bombi ne bakola endagaano. 28 Ibulayimu bwe yayawula endiga enkazi musanvu n’aziteeka zokka, 29 Abimereki n’amubuuza nti: “Lwaki oyawudde endiga zino enkazi omusanvu?” 30 Ibulayimu n’addamu nti: “Kkiriza endiga zino enkazi omusanvu ze nkuwa ng’obujulizi obulaga nti nze nnasima oluzzi luno.” 31 Eyo ye nsonga lwaki ekifo ekyo yakituuma Beeru-seba,*+ kubanga eyo bombi gye baalayirira. 32 Bwe batyo ne bakolera endagaano e Beeru-seba,+ oluvannyuma Abimereki n’asituka awamu ne Fikoli omukulu w’eggye, ne baddayo mu nsi y’Abafirisuuti.+ 33 Oluvannyuma lw’ebyo, Ibulayimu n’asimba omuti oguyitibwa omweseri e Beeru-seba era n’akoowoolera eyo erinnya lya Yakuwa,+ Katonda ow’emirembe n’emirembe.+ 34 Ibulayimu n’abeera* mu nsi y’Abafirisuuti okumala ekiseera kiwanvu.*+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share