LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ezeekyeri 11
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Abakulu b’abantu basalirwa omusango (1-13)

        • Ekibuga kigeraageranyizibwa ku ntamu (3-12)

      • Ekisuubizo eky’okubazzaayo (14-21)

        • Baweebwa “omwoyo omuggya” (19)

      • Ekitiibwa kya Yakuwa kiva mu Yerusaalemi (22, 23)

      • Mu kwolesebwa, Ezeekyeri addayo e Bukaludaaya (24, 25)

Ezeekyeri 11:1

Marginal References

  • +Ezk 10:19
  • +Is 1:23; Ezk 22:27

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 7-8

Ezeekyeri 11:2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 7-8

Ezeekyeri 11:3

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, ekibuga Yerusaalemi Abayudaaya mwe baali basuubira nti mwe bandifunidde obukuumi.

  • *

    Oba, “entamu ey’omumwa omugazi.”

Marginal References

  • +Ezk 12:27
  • +Ezk 24:3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 7-8

Ezeekyeri 11:4

Marginal References

  • +Ezk 3:17; 20:46; 21:2

Ezeekyeri 11:5

Footnotes

  • *

    Oba, “ebiri mu mwoyo gwammwe.”

Marginal References

  • +2Pe 1:21

Ezeekyeri 11:6

Marginal References

  • +Ezk 7:23; 22:3, 4

Ezeekyeri 11:7

Marginal References

  • +Ezk 24:6

Ezeekyeri 11:8

Marginal References

  • +Yer 38:19

Ezeekyeri 11:9

Marginal References

  • +Yer 39:6, 7; 52:24-27

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 7-8

Ezeekyeri 11:10

Marginal References

  • +2Sk 25:18-21; 2By 36:17
  • +2Sk 14:25; Yer 52:27
  • +Ezk 6:13

Ezeekyeri 11:12

Marginal References

  • +Ezr 9:7; Nek 9:34
  • +Ma 12:29-31; 2By 28:1, 3; Zb 106:34-36

Ezeekyeri 11:13

Marginal References

  • +Ezk 9:8

Ezeekyeri 11:16

Marginal References

  • +2Sk 24:14, 15; Yer 24:5
  • +Lev 26:44

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 8

Ezeekyeri 11:17

Marginal References

  • +Is 11:11, 12; Yer 30:10, 11; Ezk 34:13, 14; Am 9:14, 15

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 101, 106

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 8

Ezeekyeri 11:18

Marginal References

  • +Ezk 37:23

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 100

Ezeekyeri 11:19

Footnotes

  • *

    Obut., “omutima gumu.”

  • *

    Kwe kugamba, omutima ogukolera ku bulagirizi bwa Katonda.

Marginal References

  • +Yer 24:7; 31:33; 32:39
  • +Zb 51:10; Ezk 36:31
  • +Zek 7:12
  • +Ezk 36:26

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 102, 107

Ezeekyeri 11:22

Marginal References

  • +Ezk 1:19
  • +Ezk 10:18, 19

Ezeekyeri 11:23

Marginal References

  • +Ezk 9:3; 10:4
  • +Zek 14:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 9-10

Ezeekyeri 11:24

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 9-10

Ezeekyeri 11:25

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 9-10

General

Ezk. 11:1Ezk 10:19
Ezk. 11:1Is 1:23; Ezk 22:27
Ezk. 11:3Ezk 12:27
Ezk. 11:3Ezk 24:3
Ezk. 11:4Ezk 3:17; 20:46; 21:2
Ezk. 11:52Pe 1:21
Ezk. 11:6Ezk 7:23; 22:3, 4
Ezk. 11:7Ezk 24:6
Ezk. 11:8Yer 38:19
Ezk. 11:9Yer 39:6, 7; 52:24-27
Ezk. 11:102Sk 25:18-21; 2By 36:17
Ezk. 11:102Sk 14:25; Yer 52:27
Ezk. 11:10Ezk 6:13
Ezk. 11:12Ezr 9:7; Nek 9:34
Ezk. 11:12Ma 12:29-31; 2By 28:1, 3; Zb 106:34-36
Ezk. 11:13Ezk 9:8
Ezk. 11:162Sk 24:14, 15; Yer 24:5
Ezk. 11:16Lev 26:44
Ezk. 11:17Is 11:11, 12; Yer 30:10, 11; Ezk 34:13, 14; Am 9:14, 15
Ezk. 11:18Ezk 37:23
Ezk. 11:19Yer 24:7; 31:33; 32:39
Ezk. 11:19Zb 51:10; Ezk 36:31
Ezk. 11:19Zek 7:12
Ezk. 11:19Ezk 36:26
Ezk. 11:22Ezk 1:19
Ezk. 11:22Ezk 10:18, 19
Ezk. 11:23Ezk 9:3; 10:4
Ezk. 11:23Zek 14:4
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ezeekyeri 11:1-25

Ezeekyeri

11 Awo omwoyo ne gunsitula ne guntwala ku mulyango ogw’ebuvanjuba ogw’ennyumba ya Yakuwa, omulyango ogutunudde ebuvanjuba.+ Eyo ku mulyango ne ndabayo abasajja 25, era mu bo mwalimu ne Yaazaniya mutabani wa Azzuli, ne Peratiya mutabani wa Benaya, abaali abakulu b’abantu.+ 2 Awo Katonda n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, bano be basajja abateesa okukola ebibi era abawa amagezi amabi mu kibuga kino. 3 Bagamba nti, ‘Kino si kye kiseera okuzimba amayumba?+ Ekibuga* ye ntamu,*+ era ffe nnyama.’

4 “Kale omwana w’omuntu, langirira. Langirira ebyo ebinaabatuukako.”+

5 Awo omwoyo gwa Yakuwa ne gunzijako,+ n’aŋŋamba nti: “Yogera nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri, kye mwogedde kituufu era mmanyi kye mulowooza.* 6 Muleetedde bangi okufiira mu kibuga kino, era enguudo zaakyo muzijjuzza emirambo.”’”+ 7 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Emirambo gye musaasaanyizza mu kibuga ye nnyama, era ekibuga ye ntamu.+ Naye mmwe mujja kuggibwa mu kibuga kino.’”

8 “‘Mutidde ekitala,+ naye nja kubaleetako ekitala,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. 9 ‘Nja kubaggya mu kibuga mbaweeyo mu mukono gw’abagwira mbabonereze.+ 10 Mujja kuttibwa n’ekitala.+ Nja kubalamulira ku nsalo za Isirayiri,+ era mujja kumanya nti nze Yakuwa.+ 11 Ekibuga tekijja kubeera ntamu gye muli, era nammwe temujja kuba nnyama mu kyo; nja kubalamulira ku nsalo za Isirayiri, 12 era mujja kumanya nti nze Yakuwa, kubanga temwatambulira mu mateeka gange era temwagoberera biragiro byange,+ naye ne mukwata ebiragiro by’amawanga agabeetoolodde.’”+

13 Bwe nnamala okulagula, Peratiya mutabani wa Benaya n’afa, ne nvunnama wansi ne njogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna! Ogenda kuzikiriza Abayisirayiri bonna abasigaddewo?”+

14 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 15 “Omwana w’omuntu, abantu b’omu Yerusaalemi bagambye ab’ennyumba ya Isirayiri yonna awamu ne baganda bo abalina obuyinza obw’okununula eby’obusika nti, ‘Mwesambire ddala Yakuwa. Ensi yaffe; yatuweebwa ebeere yaffe.’ 16 Kale yogera nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Wadde nga nnabasindika wala nnyo okubeera mu mawanga era ne mbasaasaanyiza mu nsi ez’enjawulo,+ okumala akaseera katono nja kubabeerera ekifo ekitukuvu mu nsi ze bagenzeemu.’”+

17 “Kale yogera nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Nja kubakuŋŋaanya okuva mu mawanga ne mu nsi ez’enjawulo gye mwasaasaanyizibwa, era nja kubawa ensi ya Isirayiri.+ 18 Bajja kuddayo mu nsi ya Isirayiri bagiggyemu ebintu byayo byonna ebyenyinyaza n’ebikolwa eby’omuzizo.+ 19 Nja kubawa omutima oguli obumu*+ era mbateekemu omwoyo omuggya;+ nja kubaggyamu omutima ogukaluba ng’ejjinja,+ mbawe omutima omugonvu,*+ 20 basobole okutambulira mu mateeka gange n’okukwata ebiragiro byange n’okubigondera. Awo bajja kuba bantu bange nange mbeere Katonda waabwe.”’

21 “‘“Naye abo abamaliridde okweyongera okukola ebintu byabwe ebyenyinyaza n’ebikolwa byabwe eby’omuzizo nja kubasasula okusinziira ku makubo gaabwe,” bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.’”

22 Awo bakerubi ne bayimusa ebiwaawaatiro byabwe, nga nnamuziga zibali ku lusegere,+ nga n’ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri kiri waggulu waabwe.+ 23 Ekitiibwa kya Yakuwa+ ne kiva mu kibuga ne kiyimirira waggulu ku lusozi oluli ebuvanjuba w’ekibuga.+ 24 Mu kwolesebwa okwampeebwa okuyitira mu mwoyo gwa Katonda, omwoyo gwansitula ne guntwala eri abantu abaali mu buwaŋŋanguse mu Bukaludaaya. Awo okwolesebwa kwe nnali ndaba ne kukoma. 25 Ne ntandika okutegeeza abantu abaali mu buwaŋŋanguse ebintu byonna Yakuwa bye yali andaze.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share