LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ezeekyeri 4
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Okuzingizibwa kwa Yerusaalemi kulagibwa (1-17)

        • Ezeekyeri yeetikka ebibi okumala ennaku 390 era n’ennaku endala 40 (4-7)

Ezeekyeri 4:1

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 63

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 5

Ezeekyeri 4:2

Marginal References

  • +2Sk 24:11; Yer 39:1
  • +2Sk 25:1
  • +Yer 6:6; 32:24
  • +Ezk 21:22

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 63

Ezeekyeri 4:3

Marginal References

  • +Ezk 12:6; 24:24

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 63

Ezeekyeri 4:4

Footnotes

  • *

    Obut., “oluteekeko,” kwe kugamba, oludda lwa Ezeekyeri olwa kkono.

Marginal References

  • +2Sk 17:21

Ezeekyeri 4:5

Marginal References

  • +Kbl 14:34; 1Sk 12:19, 20

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 66-67

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 5

Ezeekyeri 4:6

Marginal References

  • +2Sk 23:27

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 32

    Okusinza Okulongoofu, lup. 66-67

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 5

Ezeekyeri 4:7

Marginal References

  • +Yer 52:4

Ezeekyeri 4:9

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Is 28:25.

Marginal References

  • +Ezk 4:5

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 63

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 5

Ezeekyeri 4:10

Footnotes

  • *

    Gramu nga 230. Laba Ebyong. B14.

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 5

Ezeekyeri 4:11

Footnotes

  • *

    Lita nga 0.6. Laba Ebyong. B14.

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 5

Ezeekyeri 4:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 5

Ezeekyeri 4:13

Marginal References

  • +Kos 9:3

Ezeekyeri 4:14

Marginal References

  • +Kuv 22:31; Lev 7:24; 11:40
  • +Ma 14:3; Is 65:4; 66:17

Ezeekyeri 4:15

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/1995, lup. 7

Ezeekyeri 4:16

Footnotes

  • *

    Obut., “kumenya emiti gy’emigaati.” Oboolyawo kitegeeza emiti kwe baaterekanga emigaati.

Marginal References

  • +Lev 26:26; Is 3:1; Ezk 5:16
  • +2Sk 25:3; Yer 37:21; Kuk 1:11; 4:9; 5:9, 10
  • +Ezk 12:18

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 63

General

Ezk. 4:22Sk 24:11; Yer 39:1
Ezk. 4:22Sk 25:1
Ezk. 4:2Yer 6:6; 32:24
Ezk. 4:2Ezk 21:22
Ezk. 4:3Ezk 12:6; 24:24
Ezk. 4:42Sk 17:21
Ezk. 4:5Kbl 14:34; 1Sk 12:19, 20
Ezk. 4:62Sk 23:27
Ezk. 4:7Yer 52:4
Ezk. 4:9Ezk 4:5
Ezk. 4:13Kos 9:3
Ezk. 4:14Kuv 22:31; Lev 7:24; 11:40
Ezk. 4:14Ma 14:3; Is 65:4; 66:17
Ezk. 4:16Lev 26:26; Is 3:1; Ezk 5:16
Ezk. 4:162Sk 25:3; Yer 37:21; Kuk 1:11; 4:9; 5:9, 10
Ezk. 4:16Ezk 12:18
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ezeekyeri 4:1-17

Ezeekyeri

4 “Era ggwe omwana w’omuntu, ddira ettoffaali oliteeke mu maaso go, olyoleko ekibuga Yerusaalemi. 2 Kizingize+ okizimbeko ekigo,+ okole ekifunvu ebweru wa bbugwe waakyo,+ osseewo ensiisira okukirumba, era okyetoolooze ebyuma ebimenya ebisenge.+ 3 Ddira ekikalango eky’ekyuma okiteekewo kibe ng’ekisenge eky’ekyuma wakati wo n’ekibuga. Kisseeko amaaso go, kijja kuba nga kizingiziddwa; ojja kukizingiza. Kano kabonero eri ennyumba ya Isirayiri.+

4 “Era weebakire ku ludda lwo olwa kkono, weeteekeko* ebibi by’ennyumba ya Isirayiri.+ Ojja kwetikka ebibi byabwe ennaku z’onoomala nga weebakidde ku ludda olwo. 5 Nja kukusalira ennaku 390, nga zenkanankana n’emyaka egy’okwonoona kwabwe,+ era ojja kwetikka ebibi by’ennyumba ya Isirayiri. 6 Oteekwa okumalako ennaku ezo.

“Ku mulundi ogw’okubiri, ojja kwebakira ku ludda lwo olwa ddyo weetikke ebibi by’ennyumba ya Yuda+ okumala ennaku 40. Buli lunaku mwaka, buli lunaku mwaka. Ekyo kye nkusalidde. 7 Ojja kutunula eri Yerusaalemi ekizingiziddwa+ ng’ofungizza omukono gw’ekyambalo kyo, olangirire ebinaakituukako.

8 “Laba! Nja kukusiba emiguwa obe nga tosobola kukyuka kwebakira ku ludda lulala, okutuusa lw’onoomalako ennaku ez’okuzingiza kwo.

9 “Ddira eŋŋaano, ssayiri, ebijanjaalo, empindi, obulo, n’eŋŋaano ey’ekika ekirala,* obiteeke mu kintu kimu obifumbemu emmere gy’onoolya okumala ennaku 390 nga weebakidde ku ludda lwo olwa kkono.+ 10 Emmere gy’onoolyanga onoomalanga kugipima, era buli lunaku onoolyanga sekeri 20.* Onoogiriiranga mu biseera ebigereke.

11 “Amazzi g’onoonywanga ganaabanga mapime, era onoonywanga kimu kya mukaaga ekya yini.* Onooganyweranga mu biseera ebigereke.

12 “Ojja kugirya nga bwe wandiridde omugaati omwetooloovu ogwa ssayiri; ojja kugifumbisa empitambi enkalu nga balaba.” 13 Yakuwa era n’agamba nti: “Bwe batyo Abayisirayiri bwe banaalyanga emmere yaabwe—nga si nnongoofu—nga bali mu mawanga gye nnaabasaasaanyiza.”+

14 Awo ne ŋŋamba nti: “Nedda Yakuwa, Mukama Afuga Byonna! Okuva mu buto bwange n’okutuusa leero, sifuukangako atali mulongoofu nga ndya ennyama y’ensolo esangiddwa ng’efudde oba etaaguddwataaguddwa,+ era siryangako nnyama etali nnongoofu.”+

15 Awo n’alyoka aŋŋamba nti: “Kale, nkukkirizza ogifumbise obusa bw’ente mu kifo ky’empitambi.” 16 Era n’ayongera n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, ŋŋenda kusaanyaawo amaterekero g’emmere* mu Yerusaalemi.+ Emmere banaalyanga mpime,+ nga beeraliikirivu nnyo, era n’amazzi banaanywanga magere,+ nga bali mu ntiisa. 17 Kino kijja kubaawo kubanga olw’okubulwa emmere n’amazzi buli omu ajja kutunuulira munne ng’atidde, era bajja kukogga olw’ensobi zaabwe.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share