LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ezeekyeri 8
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Mu kwolesebwa, Ezeekyeri atwalibwa mu Yerusaalemi (1-4)

      • Eby’omuzizo birabibwa mu yeekaalu (5-18)

        • Abakazi bakaabira Tammuzi (14)

        • Abasajja basinza enjuba (16)

Ezeekyeri 8:1

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    2/2018, lup. 3

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 6

Ezeekyeri 8:2

Footnotes

  • *

    Ekyuma ekimasamasa ekyakolebwa mu zzaabu ne ffeeza.

Marginal References

  • +Dan 7:9
  • +Ezk 1:4, 27

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 6

Ezeekyeri 8:3

Footnotes

  • *

    Obut., “wakati w’ensi n’eggulu.”

Marginal References

  • +Yer 20:2; Ezk 9:2
  • +Ma 32:16

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 6

Ezeekyeri 8:4

Marginal References

  • +Kuv 40:34
  • +Ezk 1:27, 28

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 6

Ezeekyeri 8:5

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 53-54, 56

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/1993, lup. 13

    12/1/1988, lup. 6

Ezeekyeri 8:6

Marginal References

  • +2By 36:14
  • +Yer 26:4, 6

Ezeekyeri 8:10

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Lev 26:30.

Marginal References

  • +Lev 11:10
  • +Kuv 20:4, 5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/1993, lup. 13

Ezeekyeri 8:11

Marginal References

  • +2Sk 22:3, 4; 25:22; Yer 26:24
  • +Ezk 16:17, 18

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 54-58

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/1993, lup. 13

Ezeekyeri 8:12

Marginal References

  • +Is 29:15; Ezk 9:9

Ezeekyeri 8:14

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 57-58

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/1993, lup. 13

    12/1/1988, lup. 6

Ezeekyeri 8:15

Marginal References

  • +2By 36:14

Ezeekyeri 8:16

Marginal References

  • +2By 4:9
  • +Ma 4:19; 2Sk 17:16; Yer 8:1, 2

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 57, 58-59

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/1993, lup. 13

Ezeekyeri 8:17

Footnotes

  • *

    Oboolyawo lino lyali ttabi lye baakozesanga mu kusinza okw’obulimba.

Marginal References

  • +2Sk 21:16; Yer 19:4; Ezk 9:9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/1993, lup. 13

    12/1/1988, lup. 6

Ezeekyeri 8:18

Marginal References

  • +Ezk 5:11; 7:9
  • +Is 1:15; Mi 3:4

General

Ezk. 8:2Dan 7:9
Ezk. 8:2Ezk 1:4, 27
Ezk. 8:3Yer 20:2; Ezk 9:2
Ezk. 8:3Ma 32:16
Ezk. 8:4Kuv 40:34
Ezk. 8:4Ezk 1:27, 28
Ezk. 8:62By 36:14
Ezk. 8:6Yer 26:4, 6
Ezk. 8:10Lev 11:10
Ezk. 8:10Kuv 20:4, 5
Ezk. 8:112Sk 22:3, 4; 25:22; Yer 26:24
Ezk. 8:11Ezk 16:17, 18
Ezk. 8:12Is 29:15; Ezk 9:9
Ezk. 8:152By 36:14
Ezk. 8:162By 4:9
Ezk. 8:16Ma 4:19; 2Sk 17:16; Yer 8:1, 2
Ezk. 8:172Sk 21:16; Yer 19:4; Ezk 9:9
Ezk. 8:18Ezk 5:11; 7:9
Ezk. 8:18Is 1:15; Mi 3:4
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ezeekyeri 8:1-18

Ezeekyeri

8 Ku lunaku olw’okutaano, olw’omwezi ogw’omukaaga, mu mwaka ogw’omukaaga, bwe nnali ntudde mu nnyumba yange era nga n’abakadde ba Yuda batudde mu maaso gange, omukono gwa Yakuwa Mukama Afuga Byonna ne gunkwata nga ndi eyo. 2 Bwe nnatunula, ne ndaba omuntu eyali afaanana ng’omuliro. Wansi w’ekyo ekyalabika ng’ekiwato kye,+ waaliwo omuliro. N’okuva ku kiwato kye okwambuka yali ayakaayakana ng’ekyuma ekimasamasa.*+ 3 N’agolola ekyalabika ng’omukono, n’akwata omuvumbo gw’enviiri zange, omwoyo ne gunsitula mu bbanga* ne guntwala e Yerusaalemi mu kwolesebwa okwava eri Katonda ne gunteeka ku mulyango ogutunudde ebukiikakkono oguyingira mu luggya olw’omunda,+ awaali ekifaananyi ekisinzibwa ekikwasa obuggya, ekisunguwaza Katonda.+ 4 Era laba! ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri kyali eyo;+ kyali kifaanana ng’ekintu kye nnalaba mu lusenyi.+

5 Awo n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, yimusa amaaso go otunule ebukiikakkono.” Ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula ebukiikakkono, era laba, ebukiikakkono w’omulyango gw’ekyoto waaliwo ekifaananyi ekisinzibwa ekikwasa obuggya nga kiri mu mulyango oguyingira. 6 N’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, olaba ebintu ebibi ennyo eby’omuzizo ab’ennyumba ya Isirayiri bye bakolera wano,+ ebindeetera okwesamba ekifo kyange ekitukuvu ne nkiba wala?+ Naye ojja kulaba eby’omuzizo ebisinga n’ebyo obubi.”

7 Awo n’antwala ku mulyango oguyingira mu luggya, era bwe nnatunula, ne ndaba ekituli mu kisenge. 8 N’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, kuba ekituli mu kisenge.” Ne nkuba ekituli mu kisenge ne ndaba omulyango oguyingira. 9 Awo n’aŋŋamba nti: “Yingira olabe ebintu ebibi ennyo eby’omuzizo bye bakolera wano.” 10 Ne nnyingira ne ndaba ebifaananyi by’ebintu ebyewalula ebya buli ngeri n’eby’ensolo ez’omuzizo,+ era n’ebifaananyi byonna ebyenyinyaza* eby’ennyumba ya Isirayiri;+ byali byoleddwa ku kisenge kyonna. 11 Era abasajja 70 ku bakadde b’ennyumba ya Isirayiri baali bayimiridde mu maaso gaabyo, nga ne Yaazaniya mutabani wa Safani+ ayimiridde wakati mu bo. Buli omu yali akutte ekyoterezo mu mukono gwe, ng’omukka ogw’obubaani ogw’akaloosa gunyooka.+ 12 N’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, olaba abakadde b’ennyumba ya Isirayiri kye bakola mu kizikiza, buli omu mu kisenge eky’omunda omuli ebifaananyi by’asinza? Kubanga bagamba nti, ‘Yakuwa tatulaba. Yakuwa alese ensi.’”+

13 Era n’aŋŋamba nti: “Ojja kulaba ebintu ebirala eby’omuzizo ebibi ennyo ebisinga n’ebyo bye bakola.” 14 Awo n’antwala awayingirirwa ku mulyango ogw’ebukiikakkono ogw’ennyumba ya Yakuwa, ne ndaba abakazi abatudde nga bakaabira katonda Tammuzi.

15 Era n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, ebyo obirabye? Ojja kulaba eby’omuzizo ebibi ennyo n’okusinga ebyo.”+ 16 Awo n’antwala mu luggya olw’omunda olw’ennyumba ya Yakuwa.+ Eyo ku mulyango gwa yeekaalu ya Yakuwa, wakati w’ekisasi n’ekyoto, waaliwo abasajja nga 25. Yeekaalu ya Yakuwa baali bagikubye amabega nga batunudde ebuvanjuba; baali bavunnamidde enjuba nga batunudde ebuvanjuba.+

17 Awo n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, ebyo obirabye? Olowooza kintu kitono nnyo abantu b’ennyumba ya Yuda okukola ebintu bino eby’omuzizo, okujjuza ensi ebikolwa eby’obukambwe+ ne babeera nga bannyiiza? Basonga ettabi* mu nnyindo yange. 18 N’olwekyo, nja kubamalirako ekiruyi kyange. Eriiso lyange terijja kubakwatirwa kisa+ era sijja kubasaasira. Ne bwe banaakoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka, sijja kubawuliriza.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share