LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ezeekyeri 21
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Ekitala kya Katonda kisowoddwayo mu kiraato kyakyo (1-17)

      • Kabaka wa Babulooni wa kulumba Yerusaalemi (18-24)

      • Omwami wa Isirayiri omubi wa kuggibwawo (25-27)

        • “Ggya engule ku mutwe gwo” (26)

        • “Okutuusa nnyini yo lw’alijja” (27)

      • Ekitala kya kuzikiriza Abaamoni (28-32)

Ezeekyeri 21:2

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 53

Ezeekyeri 21:3

Marginal References

  • +Lev 26:33

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 53

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2007, lup. 14

    12/1/1988, lup. 12

Ezeekyeri 21:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 12

Ezeekyeri 21:5

Marginal References

  • +Yer 23:20

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 9, 12

Ezeekyeri 21:6

Marginal References

  • +Is 22:4; Yer 4:19; Ezk 9:8

Ezeekyeri 21:7

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, omusulo gujja kubayitamu olw’okutya.

Marginal References

  • +Ezk 7:15-17

Ezeekyeri 21:9

Marginal References

  • +Is 66:16; Yer 12:12; Am 9:4

Ezeekyeri 21:10

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, ekitala kya Yakuwa.

Marginal References

  • +Lub 49:10; 2Sa 7:12, 14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 12

Ezeekyeri 21:11

Marginal References

  • +Yer 25:9; 51:20

Ezeekyeri 21:12

Marginal References

  • +Ezk 9:8; Mi 1:8
  • +Ezk 19:1

Ezeekyeri 21:13

Footnotes

  • *

    Oba, “Ddamula tejja.”

Marginal References

  • +Yer 6:27
  • +2Sk 25:7; Ezk 19:14; 21:26

Ezeekyeri 21:14

Marginal References

  • +2Sk 25:1, 2

Ezeekyeri 21:15

Marginal References

  • +Ezk 21:7

Ezeekyeri 21:17

Marginal References

  • +Is 1:24; Ezk 5:13; 16:42

Ezeekyeri 21:19

Footnotes

  • *

    Obut., “omukono gulina.”

Ezeekyeri 21:20

Marginal References

  • +Yer 49:2; Ezk 25:5; Am 1:14
  • +2Sa 5:9; 2By 26:9; 32:2, 5; 33:1, 14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 12

Ezeekyeri 21:21

Footnotes

  • *

    Obut., “baterafi.”

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 12

Ezeekyeri 21:22

Marginal References

  • +Yer 32:24; 52:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2007, lup. 14

    12/1/1988, lup. 12

Ezeekyeri 21:23

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, abantu b’omu Yerusaalemi.

Marginal References

  • +2By 36:11, 13; Ezk 17:13
  • +2Sk 25:6, 7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 12

Ezeekyeri 21:24

Footnotes

  • *

    Obut., “n’omukono.”

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 12

Ezeekyeri 21:25

Marginal References

  • +2By 36:11, 13; Yer 24:8; 52:1, 2; Ezk 17:19

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 80

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 12-13

Ezeekyeri 21:26

Marginal References

  • +2Sk 25:5-7; Yer 52:8, 11; Ezk 12:12, 13
  • +Ezk 21:13
  • +Zb 75:7; Dan 4:17
  • +Dan 4:37; Luk 21:24

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 89-90

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 12-13

Ezeekyeri 21:27

Marginal References

  • +Lub 49:10; Zb 89:3, 4; 110:1; Is 9:6; 11:10; Luk 1:32, 33; Kub 5:5
  • +Zb 2:6, 8; Dan 7:13, 14; Luk 22:29

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 88, 89-90

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2007, lup. 23

    12/1/1988, lup. 12-13

Ezeekyeri 21:28

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 13

Ezeekyeri 21:29

Footnotes

  • *

    Obut., “ku nsingo z’abo abanattibwa.”

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 13

Ezeekyeri 21:31

Marginal References

  • +Ezk 25:5

Ezeekyeri 21:32

Marginal References

  • +Yer 49:2, 3

General

Ezk. 21:3Lev 26:33
Ezk. 21:5Yer 23:20
Ezk. 21:6Is 22:4; Yer 4:19; Ezk 9:8
Ezk. 21:7Ezk 7:15-17
Ezk. 21:9Is 66:16; Yer 12:12; Am 9:4
Ezk. 21:10Lub 49:10; 2Sa 7:12, 14
Ezk. 21:11Yer 25:9; 51:20
Ezk. 21:12Ezk 9:8; Mi 1:8
Ezk. 21:12Ezk 19:1
Ezk. 21:13Yer 6:27
Ezk. 21:132Sk 25:7; Ezk 19:14; 21:26
Ezk. 21:142Sk 25:1, 2
Ezk. 21:15Ezk 21:7
Ezk. 21:17Is 1:24; Ezk 5:13; 16:42
Ezk. 21:20Yer 49:2; Ezk 25:5; Am 1:14
Ezk. 21:202Sa 5:9; 2By 26:9; 32:2, 5; 33:1, 14
Ezk. 21:22Yer 32:24; 52:4
Ezk. 21:232By 36:11, 13; Ezk 17:13
Ezk. 21:232Sk 25:6, 7
Ezk. 21:252By 36:11, 13; Yer 24:8; 52:1, 2; Ezk 17:19
Ezk. 21:262Sk 25:5-7; Yer 52:8, 11; Ezk 12:12, 13
Ezk. 21:26Ezk 21:13
Ezk. 21:26Zb 75:7; Dan 4:17
Ezk. 21:26Dan 4:37; Luk 21:24
Ezk. 21:27Lub 49:10; Zb 89:3, 4; 110:1; Is 9:6; 11:10; Luk 1:32, 33; Kub 5:5
Ezk. 21:27Zb 2:6, 8; Dan 7:13, 14; Luk 22:29
Ezk. 21:31Ezk 25:5
Ezk. 21:32Yer 49:2, 3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ezeekyeri 21:1-32

Ezeekyeri

21 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu, tunula e Yerusaalemi olangirire ebinaatuuka ku bifo ebitukuvu, ne ku nsi ya Isirayiri. 3 Langirira eri ensi ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Nfuuse mulabe wo, era nja kusowolayo ekitala kyange mu kiraato kyakyo+ nkumaliremu ddala abantu abatuukirivu n’ababi. 4 Okuva bwe kiri nti nja kukumaliramu ddala abantu abatuukirivu n’ababi, ekitala kyange kijja kusowolwayo mu kiraato kyakyo kitte abantu bonna okuva ebukiikaddyo okutuuka ebukiikakkono. 5 Abantu bonna bajja kumanya nti nze Yakuwa nze nsowoddeyo ekitala kyange. Tekijja kuddayo mu kiraato kyakyo.”’+

6 “Kale ggwe omwana w’omuntu, sinda nga bw’okankana, sinda nnyo mu maaso gaabwe.+ 7 Bwe banaakubuuza nti, ‘Lwaki osinda?’ ojja kubagamba nti, ‘Nsinda olw’ebyo bye mpulidde.’ Kubanga bijja kubaawo, era emitima gyabwe gijja kusaanuuka olw’okutya, n’emikono gyabwe gijja kunafuwa, era bajja kunyiikaala, n’amaviivi gaabwe gajja kukulukutirako amazzi.*+ ‘Laba! Bijja kubaawo, bijja kutuukirira,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”

8 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 9 “Omwana w’omuntu langirira nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Gamba nti, ‘Ekitala! Ekitala+ kiwagaddwa era kiziguddwa. 10 Kiwagaddwa kitte abantu bangi; kiziguddwa kimyanse ng’ekimyanso.’”’”

“Tetwandisanyuse?”

“‘Kinaanyooma* ddamula y’omwana wange,+ nga bwe kinyooma buli muti?

11 “‘Kiweereddwayo kizigulwe, omukono gukikozese. Ekitala kino kiwagaddwa era kiziguddwa kikwasibwe anaakikozesa okutta.+

12 “‘Ggwe omwana w’omuntu kaaba era okube ebiwoobe,+ kubanga ekitala kijjiridde abantu bange; kijjiridde abaami ba Isirayiri bonna.+ Bajja kuttibwa n’ekitala awamu n’abantu bange. Kale weekube ku kisambi olw’obuyinike. 13 Ekitala kigezeseddwa,+ era kiki ekinaabaawo nga kinyoomye ddamula? Tejja* kweyongera kubaawo,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.

14 “Kale omwana w’omuntu langirira, okube mu ngalo, era oyogere emirundi esatu nti, ‘Ekitala!’ Kye kitala ekitta, kye kitala ekisanjaga abantu ekibeetoolodde.+ 15 Emitima gyabwe gijja kusaanuuka olw’okutya+ era bangi bajja kugwa ku miryango gy’ekibuga kyabwe; nja kubatta n’ekitala. Kimyansa ng’ekimyanso era kiziguddwa okutta! 16 Ekitala, tema ku luuyi olwa ddyo, tema ku luuyi olwa kkono! Genda yonna oluuyi lwo olusala gye lutunudde! 17 Era nja kukuba mu ngalo obusungu bwange bukkakkane.+ Nze Yakuwa nze nkyogedde.”

18 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 19 “Kale ggwe omwana w’omuntu, lamba amakubo abiri ekitala kya kabaka wa Babulooni mwe kinaayita. Amakubo gombi gajja kusibuka mu nsi emu, era ekipande kirina* okuteekebwa mu kifo amakubo ago we gaawukanira okugenda mu bibuga ebibiri. 20 Lamba ekkubo ekitala we kinaayita okugenda okulumba Labba+ eky’Abaamoni, n’ekkubo eddala mwe kinaayita okugenda okulwanyisa Yerusaalemi+ eky’omu Yuda ekiriko bbugwe. 21 Kubanga kabaka wa Babulooni ayimirira mu masaŋŋanzira amakubo abiri we gaawukanira, ne yeeraguza. Anyeenyanyeenya obusaale bwe, yeebuuza ku bifaananyi bye by’asinza,* era yeekebejja ekibumba ky’ensolo. 22 Eby’okulaguzisa ebiri mu mukono gwe ogwa ddyo biraga nti alina kugenda Yerusaalemi, asimbe ebyuma ebimenya ebisenge, alagire batte, alaye enduulu z’olutalo, asimbe ku miryango gy’ekibuga ebyuma ebimenya ebisenge, akole ekifunvu, era azimbe ekigo.+ 23 Naye okulagula okwo kujja kulabika ng’okw’obulimba eri abo* abaali babalayiridde ebirayiro.+ Naye ajjukira ensobi zaabwe era ajja kubawamba.+

24 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Mmwe muleetedde ensobi zammwe okujjukirwa nga mwolesa okwonoona kwammwe era nga muleetera ebibi byammwe okulabibwa mu byonna bye mukola. Kale nga bwe mujjukiddwa, mujja kutwalibwa lwa mpaka.’*

25 “Ggwe omwami wa Isirayiri omubi,+ atuusiddwako ebisago eby’amaanyi, ekiseera eky’okukuweerako ekibonerezo ekisembayo kituuse. 26 Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Ggya ekiremba ku mutwe gwo, era ggya engule ku mutwe gwo.+ Ebintu tebijja kusigala nga bwe biri.+ Gulumiza owa wansi,+ ofeebye owa waggulu.+ 27 Engule nja kugizikiriza, nja kugizikiriza, nja kugizikiriza. Tejja kuweebwa muntu yenna okutuusa nnyini yo lw’alijja,+ era ndigimuwa.’+

28 “Omwana w’omuntu, langirira nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’ayogera ku Baamoni ne ku bivumo byabwe.’ Yogera nti, ‘Ekitala! Ekitala kisowoddwayo okutta; kiziguddwa okuzikiriza, n’okumyansa ng’ekimyanso. 29 Wadde nga waaliwo okwolesebwa n’okulagula okw’obulimba okukukwatako, ojja kutuumibwa ku mirambo gy’abo abanattibwa,* abantu ababi abanaaba batuukiddwako olunaku lwabwe olw’okubonerezebwa okusembayo. 30 Ekitala ka kizzibwe mu kiraato kyakyo. Nja kukusalira omusango mu kifo gye watondebwa, mu nsi gye wasibuka. 31 Nja kukufukako obusungu bwange. Nja kukufuuwako n’omuliro gw’ekiruyi kyange, era nja kukuwaayo mu mukono gw’abasajja abakambwe, abalina obumanyirivu mu kuzikiriza.+ 32 Ojja kufuuka nku;+ omusaayi gwo gujja kuyiibwa mu nsi, era toliddamu kujjukirwa, kubanga nze Yakuwa nze nkyogedde.’”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share