Ekyabalamuzi
10 Abimereki bwe yamala okufa, Tola mutabani wa Puwa, mutabani wa Dodo, omusajja wa Isakaali, ye yajja okulokola Isirayiri.+ Yali abeera mu Samiri ekiri mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi. 2 Yalamula Isirayiri okumala emyaka 23, oluvannyuma n’afa n’aziikibwa mu Samiri.
3 Oluvannyuma lwa Tola waddawo Yayiri Omugireyaadi, era yalamula Isirayiri okumala emyaka 22. 4 Yalina abaana ab’obulenzi 30 abaatambuliranga ku ndogoyi 30, era baalina ebibuga 30. Ebibuga ebyo bakyabiyita Kavosu-yayiri n’okutuusa leero;+ biri mu kitundu ky’e Gireyaadi. 5 Oluvannyuma Yayiri yafa n’aziikibwa mu Kamoni.
6 Abayisirayiri ne baddamu okukola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa,+ era ne batandika okuweereza Babbaali,+ n’ebifaananyi bya Asutoleesi, ne bakatonda b’e Alamu,* ne bakatonda b’e Sidoni, ne bakatonda ba Mowaabu,+ ne bakatonda b’Abaamoni,+ ne bakatonda b’Abafirisuuti.+ Bwe batyo ne bava ku Yakuwa ne batamuweereza. 7 Awo obusungu bwa Yakuwa ne bubuubuukira Isirayiri, n’abatunda mu mukono gw’Abafirisuuti ne mu mukono gw’Abaamoni.+ 8 Ne babonyaabonya era ne banyigiriza nnyo Abayisirayiri mu mwaka ogwo—okumala emyaka 18 baanyigiriza Abayisirayiri bonna abaali emitala wa Yoludaani mu kitundu ekyali eky’Abaamoli mu Gireyaadi. 9 Abaamoni baasomokanga ne Yoludaani okulwanyisa Yuda ne Benyamini n’ennyumba ya Efulayimu; Isirayiri n’ebeera mu nnaku ey’amaanyi ennyo. 10 Abayisirayiri ne bakoowoola Yakuwa abayambe+ nga bagamba nti: “Twonoonye mu maaso go, kubanga tukuvuddeko ggwe Katonda waffe ne tuweereza Babbaali.”+
11 Awo Yakuwa n’agamba Abayisirayiri nti: “Saabalokola mu mukono gw’Abamisiri+ n’Abaamoli+ n’Abaamoni n’Abafirisuuti+ 12 n’Abasidoni n’Abamaleki n’Abamidiyaani bwe baali nga babanyigiriza? Bwe mwankaabirira, nnabalokola mu mukono gwabwe. 13 Naye mmwe munvuddeko ne muweereza bakatonda abalala.+ Eyo ye nsonga lwaki sijja kuddamu kubalokola.+ 14 Mugende mukoowoole bakatonda be mwalonda, babayambe;+ be baba babalokola mu nnaku yammwe.”+ 15 Naye Abayisirayiri ne bagamba Yakuwa nti: “Twonoonye. Tukole kyonna ky’oyagala. Tukwegayiridde tununule olwa leero.” 16 Awo ne beggyako bakatonda abalala ne baweereza Yakuwa,+ n’aba nga takyasobola kugumiikiriza kubonaabona kwa Isirayiri.+
17 Awo Abaamoni+ ne bakuŋŋaana wamu ne beeteekerateekera olutalo mu Gireyaadi. N’Abayisirayiri nabo ne bakuŋŋaana ne beeteekerateekera olutalo mu Mizupa. 18 Abantu n’abaami ba Gireyaadi ne beebuuzaganya nti: “Ani anaatukulemberamu okulwanyisa Abaamoni?+ Oyo y’anaabeera omukulu w’abatuuze b’omu Gireyaadi bonna.”