LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Eby’Abaleevi 15
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Amazzi agava mu bitundu eby’ekyama (1-33)

Eby’Abaleevi 15:2

Footnotes

  • *

    Obut., “mu mubiri gwe.”

Marginal References

  • +Lev 22:4; Kbl 5:2

Eby’Abaleevi 15:5

Marginal References

  • +Lev 11:24, 25; 14:46, 47; 17:15; 22:6

Eby’Abaleevi 15:11

Marginal References

  • +Lev 15:2

Eby’Abaleevi 15:12

Marginal References

  • +Lev 11:32, 33

Eby’Abaleevi 15:13

Marginal References

  • +Lev 14:8

Eby’Abaleevi 15:14

Marginal References

  • +Lev 1:14

Eby’Abaleevi 15:16

Marginal References

  • +Lev 22:4; Ma 23:10, 11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2004, lup. 21

Eby’Abaleevi 15:18

Marginal References

  • +Kuv 19:15; 1Sa 21:5

Indexes

  • Research Guide

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 130-131

Eby’Abaleevi 15:19

Marginal References

  • +Lev 12:2, 5
  • +Lev 20:18

Eby’Abaleevi 15:20

Marginal References

  • +Lev 15:4-6

Eby’Abaleevi 15:23

Marginal References

  • +Lev 15:10

Eby’Abaleevi 15:24

Marginal References

  • +Lev 18:19; 20:18

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1989, lup. 6-7

Eby’Abaleevi 15:25

Marginal References

  • +Mat 9:20; Luk 8:43
  • +Lev 15:19

Eby’Abaleevi 15:26

Marginal References

  • +Lev 15:21

Eby’Abaleevi 15:27

Marginal References

  • +Lev 15:22

Eby’Abaleevi 15:28

Marginal References

  • +Lev 15:13

Eby’Abaleevi 15:29

Marginal References

  • +Lev 1:14
  • +Lev 15:14, 15

Eby’Abaleevi 15:30

Marginal References

  • +Lev 12:7

Eby’Abaleevi 15:31

Marginal References

  • +Lev 19:30; Kbl 5:3; 19:20

Eby’Abaleevi 15:32

Marginal References

  • +Lev 15:16

Eby’Abaleevi 15:33

Marginal References

  • +Lev 15:19
  • +Lev 15:2, 25

General

Leev. 15:2Lev 22:4; Kbl 5:2
Leev. 15:5Lev 11:24, 25; 14:46, 47; 17:15; 22:6
Leev. 15:11Lev 15:2
Leev. 15:12Lev 11:32, 33
Leev. 15:13Lev 14:8
Leev. 15:14Lev 1:14
Leev. 15:16Lev 22:4; Ma 23:10, 11
Leev. 15:18Kuv 19:15; 1Sa 21:5
Leev. 15:19Lev 12:2, 5
Leev. 15:19Lev 20:18
Leev. 15:20Lev 15:4-6
Leev. 15:23Lev 15:10
Leev. 15:24Lev 18:19; 20:18
Leev. 15:25Mat 9:20; Luk 8:43
Leev. 15:25Lev 15:19
Leev. 15:26Lev 15:21
Leev. 15:27Lev 15:22
Leev. 15:28Lev 15:13
Leev. 15:29Lev 1:14
Leev. 15:29Lev 15:14, 15
Leev. 15:30Lev 12:7
Leev. 15:31Lev 19:30; Kbl 5:3; 19:20
Leev. 15:32Lev 15:16
Leev. 15:33Lev 15:19
Leev. 15:33Lev 15:2, 25
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Eby’Abaleevi 15:1-33

Eby’Abaleevi

15 Yakuwa era n’agamba Musa ne Alooni nti: 2 “Mugambe Abayisirayiri nti, ‘Omusajja yenna bw’abanga n’endwadde emuleetera okuvaamu amazzi mu bitundu bye eby’ekyama,* amazzi ago gamufuula atali mulongoofu.+ 3 Taabenga mulongoofu olw’amazzi ago agamuvaamu, ka kibe nti ebitundu bye eby’ekyama byeyongera okuvaamu amazzi ago oba nga bizibikidde, taabenga mulongoofu.

4 “‘Ekitanda kyonna omuntu alina endwadde emuleetera okuvaamu amazzi ky’aneebakangako tekiibenga kirongoofu, era n’ekintu kyonna ky’anaatuulangako tekiibenga kirongoofu. 5 Omuntu yenna anaakwatanga ku kitanda kye anaayozanga ebyambalo bye n’anaaba amazzi, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.+ 6 Oyo yenna anaatuulanga ku kintu oyo alina endwadde emuleetera okuvaamu amazzi ky’anaabanga atuddeko, anaayozanga ebyambalo bye, n’anaaba amazzi, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. 7 Buli anaakwatanga ku oyo alina endwadde emuleetera okuvaamu amazzi, anaayozanga ebyambalo bye n’anaaba amazzi, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. 8 Oyo alina endwadde emuleetera okuvaamu amazzi bw’anaawandanga amalusu ku muntu omulongoofu, omuntu oyo omulongoofu anaayozanga ebyambalo bye n’anaaba amazzi, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. 9 Amatandiiko aganaatuulwangako oyo alina endwadde emuleetera okuvaamu amazzi tegaabenga malongoofu. 10 Omuntu yenna anaakwatanga ku kintu kyonna ky’anaabanga atuddeko taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi, era omuntu yenna anaasitulanga ebintu ebyo anaayozanga ebyambalo bye, n’anaaba amazzi, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. 11 Oyo alina endwadde emuleetera okuvaamu amazzi+ bw’anaakwatanga ku muntu yenna nga tanaabye mu ngalo n’amazzi, oyo anaabanga akwatiddwako anaayozanga ebyambalo bye n’anaaba amazzi, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. 12 Ekibya ky’ebbumba oyo alina endwadde emuleetera okuvaamu amazzi ky’anaakwatangako kinaayasibwanga; ekibya kyonna ekyakolebwa mu muti kinaayozebwanga n’amazzi.+

13 “‘Omuntu alina endwadde emuleetera okuvaamu amazzi bw’anaawonanga n’aba mulongoofu, oluvannyuma lw’ennaku musanvu anaayozanga ebyambalo bye n’anaaba amazzi agaseneddwa ku mazzi agakulukuta; era anaabanga mulongoofu.+ 14 Ku lunaku olw’omunaana, anaddiranga amayiba abiri oba enjiibwa bbiri ento,+ n’agenda mu maaso ga Yakuwa ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu n’abiwa kabona. 15 Kabona anaawangayo ekimu ku byo ng’ekiweebwayo olw’ekibi ate ekirala n’akiwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa, era kabona anaamutangirira mu maaso ga Yakuwa olw’endwadde eyo ebadde emuleetera okuvaamu amazzi.

16 “‘Omusajja bw’anaavangamu amazzi g’ekisajja, anaanaabanga omubiri gwe gwonna n’amazzi era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.+ 17 Anaayozanga ekyambalo kyonna oba eddiba lyonna erinaagendangako amazzi ago, era tekiibenga kirongoofu okutuusa akawungeezi.

18 “‘Omusajja bw’aneegattanga n’omukazi, n’avaamu amazzi g’ekisajja, banaanaabanga amazzi era tebaabenga balongoofu okutuusa akawungeezi.+

19 “‘Omukazi bw’anaavangamu omusaayi, anaamalanga ennaku musanvu+ nga si mulongoofu olw’okubeera mu nsonga, era omuntu yenna anaamukwatangako taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.+ 20 Ekintu kyonna ky’aneebakangako ng’ali mu nsonga tekiibenga kirongoofu, era ekintu kyonna ky’anaatuulangako tekiibenga kirongoofu.+ 21 Omuntu yenna anaakwatanga ku kitanda kye anaayozanga ebyambalo bye, n’anaaba amazzi, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. 22 Omuntu yenna anaakwatanga ku kintu ky’anaabanga atuddeko anaayozanga ebyambalo bye, n’anaaba amazzi, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. 23 Bw’anaatuulanga ku kitanda oba ku kintu ekirala kyonna, oyo anaakikwatangako taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.+ 24 Era omusajja bw’aneegattanga naye n’afuuka atali mulongoofu olw’omusaayi ogumuvaamu ng’ali mu nsonga,+ omusajja oyo taabenga mulongoofu okumala ennaku musanvu, era ekitanda kyonna ky’aneebakangako tekiibenga kirongoofu.

25 “‘Omukazi bw’anaavangamu omusaayi okumala ennaku nnyingi+ nga si kye kiseera eky’okuba mu nsonga,+ oba bw’anaavangamu omusaayi okumala ennaku ezisukka mu ezo z’atera okumala ng’ali mu nsonga, ennaku zonna z’anaamala ng’avaamu omusaayi taabenga mulongoofu nga bwe kiba ng’ali mu nsonga. 26 Ekitanda kyonna ky’aneebakangako mu nnaku ezo ng’avaamu omusaayi kinaabanga ng’ekitanda kye yeebakako ng’ali mu nsonga,+ era n’ekintu kyonna ky’anaatuulangako tekiibenga kirongoofu nga bwe kiba ng’ali mu nsonga. 27 Omuntu yenna anaabikwatangako taabenga mulongoofu, era anaayozanga ebyambalo bye, n’anaaba amazzi, n’aba nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.+

28 “‘Naye bw’anaalekeranga awo okuvaamu omusaayi, aneebaliranga ennaku musanvu okuva ku lunaku lw’alekera awo okuvaamu omusaayi, oluvannyuma n’alyoka aba mulongoofu.+ 29 Ku lunaku olw’omunaana, anaatwalanga amayiba abiri oba enjiibwa bbiri ento+ eri kabona ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu.+ 30 Kabona anaawangayo emu ng’ekiweebwayo olw’ekibi ate endala ng’ekiweebwayo ekyokebwa, era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Yakuwa olw’omusaayi ogwamufuula atali mulongoofu.+

31 “‘Bwe mutyo bwe munaayambanga Abayisirayiri okuba abalongoofu, baleme okufiira mu butali bulongoofu bwabwe olw’okwonoona weema yange entukuvu eri wakati mu bo.+

32 “‘Eryo lye tteeka erikwata ku musajja alina endwadde emuleetera okuvaamu amazzi mu bitundu bye eby’ekyama n’oyo ataba mulongoofu olw’okuvaamu amazzi g’ekisajja,+ 33 n’omukazi atali mulongoofu olw’okubeera mu nsonga,+ n’omuntu yenna alina endwadde emuleetera okuvaamu amazzi mu bitundu bye eby’ekyama,+ k’abe musajja oba mukazi, era n’omusajja eyeegatta n’omukazi atali mulongoofu.’”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share